Abakkiriza beeyiiye mu kuggulawo Eklesia e Nsambya
May 09, 2022
ABAKKIRIZA beeyiiye mu bungi ku Eklesia ya St. Gabriele Orthodox Church Kalule zooni -Nsambya mu munisipaali y'e Makindye ku mukolo gw'okuggulawo Eklesia eno ku Ssande.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Benjamin Ssemwanga
ABAKKIRIZA beeyiiye mu bungi ku Eklesia ya St. Gabriele Orthodox Church Kalule zooni -Nsambya mu munisipaali y'e Makindye ku mukolo gw'okuggulawo Eklesia eno ku Ssande.
Abakulembeze mu ddiini y'aba Orthodox mu Uganda , Eritrea ne Ethiopia be bakulembeddemu enteekateeka eno nga beegattiddwaako abakulembeze ba Makindye.
Ezra Gebrasus eyakulembeddemu aba Eritrea abeegattira mu Eritrean Orthodox Community abaakulembeddemu enteekateeka eno yagambye nti okuzimba Eklesia eno kwabadde kukwatira wamu n'abantu bangi omwabadde abakulembeze mu nzikiriza y'aba Orthodox, ab'amaddiini eg'enjawulo abaabakwatiddeko n'abantu ssekinnoomu abaalwanye okulaba ng' omulimu gugenda mu maaso.
Yagambye nti babadde basanga okusoomozebwa nga basabira mu kibiina ky'abaana ekyabaweebwa abakulembeze ku kitebe e Namungoona okuva mu 2006 okutuusa mu 2010 lwebafuna ekirowoozo kyokutandika okuzimba Eklesia eno gye bagguddewo.
Steven Ssemmanda, Ssentebe LC1 Kalule zooni yategeezezza nti Eklesia eyazimbiddwa yasobodde okubbulula ekitundu okuva ku mbeera gyekibadde kimanyiddwamu nga ekyenzigotta okukifuula ekitundu eky'omulembe ng' enguudo ezenjawulo zikoleddwa n'amayumba okuddaabirizibwa olw'abantu abagenda okutandika okukungaana mu bungi okusabirayo.
No Comment