Omumbejja Zalwango bamuggaliddwa lwa kutunda njaga

Poliisi y'e Natete ekutte n'eggalira omukyala Jane Zalwango (27) omutuuze mu  Kabaawo zooni e Nateete eyakwatiddwa n'enjaga gy'asuubula e Mityana ne Mpigi n'agireeta mu Nateete n'agitunda mu bitundu  okuli; Kaboowa, Kabaawo, Railway, Kajumbi, ne Mutundwe.

Omumbejja Zalwango bamuggaliddwa lwa kutunda njaga
By Martin Kizza
Journalists @New Vision

Poliisi y'e Natete ekutte n'eggalira omukyala Jane Zalwango (27) omutuuze mu  Kabaawo zooni e Nateete eyakwatiddwa n'enjaga gy'asuubula e Mityana ne Mpigi n'agireeta mu Nateete n'agitunda mu bitundu  okuli; Kaboowa, Kabaawo, Railway, Kajumbi, ne Mutundwe.

Abatuuze mu Kajumbi be baalonkoomye Zalwango ku Poliisi y'e Nateete n'emuliimisa ng'aguza abantu ne bamukwataka.

Zalwango n'emisokoto gy'enjaga

Zalwango n'emisokoto gy'enjaga

John Kigagga, ssentebe wa Kajumbi ategeezezza nti omukyala ono abadde tamumanyi mu kitundu kye, kimukubye wala nti enjaga agitundira mu kitundu kye n'agiguzza abantu abenjawulo.

Kigagga asabye abatuuze okweyanjulanga nga ku LC nga batuuse mu bitundu, n'asaba Poliisi ekangavule omukyala ono kubanga enjaga y'esinga okuviirako abantu okutabuka emitwe nga bagikozesezza. 

Akulira poliisi y'e Nateete, Hassan Ssekalema ategeezezza nti bakyali ku muyiggo gw'abantu abatambuza enjaga mu bitundu ebyenjawulo okuli aba Bodaboda n'emmotoka nabo bakwatibwe.

Ssekalema asabye abatuuze okukolagana ne Poliisi nbga bagitegeeza ku bantu be batamanyi mu kitundu nga bwe baakoze kw'ono omukyala.

Zalwango yagguddwaako omusango gw'okusangibwa n'ebiragalalagala ku fayiro nnamba SD: 89/11/12/2022 ng'alinze kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.