Basomeseddwa ku nteekateeka y'okukuumira Pulezidenti Museveni mu ntebe ne bakkiriza

Feb 15, 2023

Abawagizi ba NRM mu disitulikiti y’e  Kayunga bawagidde enteekateeka ya Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2026 gye baatuuma “Jjajja tova ku main”.

NewVision Reporter
@NewVision

Abawagizi ba NRM mu disitulikiti y’e  Kayunga bawagidde enteekateeka ya Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2026 gye baatuuma “Jjajja tova ku main”.

Okweyamo buno baabuwadde mu maaso g’akulira ofiisi ya ssentebe wa NRM (Office of the National chairman) hajat Hadija Namyalo e Budaali mu ggombolola y’e Bbaale mu disitulikiti y’e Kayunga mu maka ga ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Karangwa.

Nga bakulembeddwa ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Kaliisa Karangwa beeyamye okulaba nga okulonda okujja Pulezidenti Museveni akalulu akawangulira waggulu.

Hajat Namyalo, Karangwa N'abakulembeze Abalala Nga Bali E Budaali Mu Kayunga .ekif; Saul Wokulira

Hajat Namyalo, Karangwa N'abakulembeze Abalala Nga Bali E Budaali Mu Kayunga .ekif; Saul Wokulira

Hajat Hadijah Namyalo asomesezza ab’e Kayunga amakulu agali mu nteekateeka ya 'Jjajja tova ku main' n’agamba nti eruubirira kukuumira Pulezidenti Museveni mu kalulu era n’asaba Bannayuganda beeyambise okubeerawo kwe beekolere obugagga.

Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu buvanjuba Capt. Mike Mukula yannyonnyodde ku ngeri Pulezidenti Museveni ne gavumenti ya NRM gye batebenkezza emirembe mu ggwanga ne mu mawanga ag’oku mulirwano era nga y’emu ku nsonga lwaki ateekeddwa okusigala mu ntebe.

Abamu Ku Bakulembeze B'ennono Ababaddewo.ekif;saul Wokulira

Abamu Ku Bakulembeze B'ennono Ababaddewo.ekif;saul Wokulira

Omusomo guno gwetabiddwako abafuzi b’ensikirano bana okwabadde; Ssabanyala Maj. Baker Kimeze, Emorimori wa Teso, Omukhuka w’Abagisu n’abalala.

Karangwa yeeyamye ne banne bwe bali ku lukiiko nti baakulwana waakiri okufiirawo okulaba nga NRM ewangulira waggulu akalulu akajja.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});