Museveni avuddeyo ku by’amabaati baminisita ge beegabanya

Mar 09, 2023

BAMINISITA abali mu mivuyo gy’okugabana amabaati n’ebintu ebirala eby’abantu b’e Karamoja gabamyuse, Pulezidenti Musev­eni bw’asinzidde mu lutuula lwa kabineeti n’abalagira bamunnyon­nyole ekyabakoza ebintu ebiswaza Gavumenti.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

 Bya Musasi Wa Bukedde

BAMINISITA abali mu mivuyo gy’okugabana amabaati n’ebintu ebirala eby’abantu b’e Karamoja gabamyuse, Pulezidenti Musev­eni bw’asinzidde mu lutuula lwa kabineeti n’abalagira bamunnyon­nyole ekyabakoza ebintu ebiswaza Gavumenti.

Olutuula lwa kabineeti olwabad­dewo ku Mmande nga March 6, lwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni.

                                         Amos Lugoloobi

Amos Lugoloobi

Lwalaze nti abanaasangibwa nga beenyigira mu mivuyo gy’okwezza amabaati g’e Karamoja bandivu­naanibwa ogw’okukozesa obubi ofiisi zaabwe ne bavumaganya gavumenti.

Ensonda za baminisita babiri abaayogeddeko ne New Vision mu kyama, zaategeezezza nti Museveni eyabadde omukambwe, yalagidde Katikkiro wa Ugan­da Robinah Nabbanja okukola lipooti mu bwangu ku nsonga z’e Karamoja awaalina okutwalibwa ebintu bya buwumbi 39, okuva mu ofiisi ye.

Matia Kasaija

Matia Kasaija

Kigambibwa nti Museveni eya­badde tasalikako musale, yatuuse n’okubuuza nti lwaki Palamenti emala obudde ng’enoonyereza ku bantu bano ng’ate bamany­iddwa, n’agamba nti ekituufu ekyandikoleddwa kwe kubakwata.

Kyokka minisita omulala eyagaanyi okumwogera erinn­ya, yategeezezza nti Pulezidenti yalagidde baminisita abamu bamusisinkane omu ku omu bamunnyonnyole ku nsonga z’e Karamoja nga wiiki eno tennagg­waako.

Bukedde bwe yatuukiridde minisita w’ebyamawulire era akola ng’omwogezi wa Gavumenti, Dr. Chris Baryomunsi yagaanyi okwogera ku byabadde mu kabi­neeti n’agamba nti tannaweebwa buyinza kukikola.

Katikkiro Robina Nabbanja

Katikkiro Robina Nabbanja

Ensonga y’amabaati eno yasajjuka wiiki nga ssatu eziyise oluvannyuma lwa poliisi okukwata abooluganda lwa minisita w’en­songa z’e Karamoja Maria Goretti Kitutu basatu (omwali nnyina, mwannyina ne mutabani wa mwannyina) ku bigambibwa nti baasangibwa n’amabaati ge gamu nga bagatunda mu disitulikiti y’e Namisindwa.

Kyokka bano kigambibwa nti poliisi yabayimbula ku kakalu kaayo ng’egamba nti bakadde abatasaanidde kukuumirwa mu kaduukulu kaayo era n’ebaggyako amabaati agawera ge yasanga mu nnyumba zaabwe.

 

Okuva olwo akakiiko k’amaka g’obwapulezidenti akalwanyisa en­guzi kaatandika okunoonyereza ku nsonga y’amabaati gano kw’ossa akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’Obwapulezidenti kyokka lipooti eziva mu kunoonyereza zibadde tezinnafuluma.

Mu baminisita abalala abooger­wako okufuna amabaati ku bira­giro bya Kitutu kuliko: Minisita Amos Lugoloobi, Rebecca Kadaga, Moriku Kaducu, Jacob Oboth Oboth, Matia Kasaija, omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda Rukia Nakadaama, Sipiika Anita Among n’abalala.

Pulezidenti Museveni abadde tannavaayo kwogera ku nsonga z’amabaati mu lwatu okuva lwe zaasajjuka.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});