Museveni avuddeyo ku by’amabaati baminisita ge beegabanya
Mar 09, 2023
BAMINISITA abali mu mivuyo gy’okugabana amabaati n’ebintu ebirala eby’abantu b’e Karamoja gabamyuse, Pulezidenti Museveni bw’asinzidde mu lutuula lwa kabineeti n’abalagira bamunnyonnyole ekyabakoza ebintu ebiswaza Gavumenti.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Musasi Wa Bukedde
BAMINISITA abali mu mivuyo gy’okugabana amabaati n’ebintu ebirala eby’abantu b’e Karamoja gabamyuse, Pulezidenti Museveni bw’asinzidde mu lutuula lwa kabineeti n’abalagira bamunnyonnyole ekyabakoza ebintu ebiswaza Gavumenti.
Olutuula lwa kabineeti olwabaddewo ku Mmande nga March 6, lwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni.
Amos Lugoloobi
Lwalaze nti abanaasangibwa nga beenyigira mu mivuyo gy’okwezza amabaati g’e Karamoja bandivunaanibwa ogw’okukozesa obubi ofiisi zaabwe ne bavumaganya gavumenti.
Ensonda za baminisita babiri abaayogeddeko ne New Vision mu kyama, zaategeezezza nti Museveni eyabadde omukambwe, yalagidde Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja okukola lipooti mu bwangu ku nsonga z’e Karamoja awaalina okutwalibwa ebintu bya buwumbi 39, okuva mu ofiisi ye.
Matia Kasaija
Kigambibwa nti Museveni eyabadde tasalikako musale, yatuuse n’okubuuza nti lwaki Palamenti emala obudde ng’enoonyereza ku bantu bano ng’ate bamanyiddwa, n’agamba nti ekituufu ekyandikoleddwa kwe kubakwata.
Kyokka minisita omulala eyagaanyi okumwogera erinnya, yategeezezza nti Pulezidenti yalagidde baminisita abamu bamusisinkane omu ku omu bamunnyonnyole ku nsonga z’e Karamoja nga wiiki eno tennaggwaako.
Bukedde bwe yatuukiridde minisita w’ebyamawulire era akola ng’omwogezi wa Gavumenti, Dr. Chris Baryomunsi yagaanyi okwogera ku byabadde mu kabineeti n’agamba nti tannaweebwa buyinza kukikola.
Katikkiro Robina Nabbanja
Ensonga y’amabaati eno yasajjuka wiiki nga ssatu eziyise oluvannyuma lwa poliisi okukwata abooluganda lwa minisita w’ensonga z’e Karamoja Maria Goretti Kitutu basatu (omwali nnyina, mwannyina ne mutabani wa mwannyina) ku bigambibwa nti baasangibwa n’amabaati ge gamu nga bagatunda mu disitulikiti y’e Namisindwa.
Kyokka bano kigambibwa nti poliisi yabayimbula ku kakalu kaayo ng’egamba nti bakadde abatasaanidde kukuumirwa mu kaduukulu kaayo era n’ebaggyako amabaati agawera ge yasanga mu nnyumba zaabwe.
Okuva olwo akakiiko k’amaka g’obwapulezidenti akalwanyisa enguzi kaatandika okunoonyereza ku nsonga y’amabaati gano kw’ossa akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’Obwapulezidenti kyokka lipooti eziva mu kunoonyereza zibadde tezinnafuluma.
Mu baminisita abalala aboogerwako okufuna amabaati ku biragiro bya Kitutu kuliko: Minisita Amos Lugoloobi, Rebecca Kadaga, Moriku Kaducu, Jacob Oboth Oboth, Matia Kasaija, omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda Rukia Nakadaama, Sipiika Anita Among n’abalala.
Pulezidenti Museveni abadde tannavaayo kwogera ku nsonga z’amabaati mu lwatu okuva lwe zaasajjuka.
No Comment