Mututaase ku ttemu – batuuze

Aug 02, 2023

 ABATUUZE ku byalo bibiri okuli Luwayo ekisangibwa mu divizoni y’e Kawolo ne Nakikunyu mu ggombolola y'e Buikwe Rural balaajanidde abeebyokwerinda n’abakulembeze okuvaayo babataase ku ttemu n’obumenyi bwamateeka ebisusse mu bitundu byabwe .

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Emmanuel Balukusa

 ABATUUZE ku byalo bibiri okuli Luwayo ekisangibwa mu divizoni y’e Kawolo ne Nakikunyu mu ggombolola y'e Buikwe Rural balaajanidde abeebyokwerinda n’abakulembeze okuvaayo babataase ku ttemu n’obumenyi bwamateeka ebisusse mu bitundu byabwe .

 Joan Nalugo omutuuze w’e Nakikunyu ategeezezza ng’ ettemu erisusse mu kitundu kyabwe bwe libeeraliikiriza ennyo naddala abazadde.

Ono ategeezezza ng’omwaka guno, mu kitundu kyabwe bwe baakattiramu abatuuze babiri era ng’omuntu omu bamutta misanattuku ate omulala baamutta kawungeezi era emirambo gyabwe ne gisuulibwa ku mabbali g’oluguudo.

 Nalugo ategeezezza nga bo abazadde abalina abaana ng’ate basomera wala ekibeewanisa nnyo emitima era balaajanidde abaserikale wamu n’abatuuze okulwanyisa ettemu lino ssaako n’okwongera amaanyi mu kulawuna mu bitundu byabwe.

Mike Kyembe ategeezezza nga n’emize okuli ogw’obubbi bw’emmere n’enkoko nabyo bwe bikudde ejjembe era basabye bekikwatako okubinogera eddagala ssaako n’obuttatira abamenyi b’amateeka ku liiso.

 Okwogera bino babadde baddaabiriza oluguudo lwabwe olumanyiddwa nga Luwayo-Nakikunyu -Koba olwagwamu oluvannyuma lw’ebigoma okubbomoka era ng’amazzi gabadde ganjaala mu lugudo luno ekisannyalaza eby'entambula.

 Bano oluguudo balutaddemu ebigoma ssaako n’amayinja okutangira amazzi okuwaguza era ssentebe wa distulikiti y’e Buikwe Jimmy Kanaabi ategeezezza ng’abantu be bwe bamaze ekiseera nga bakaaba olw’oluguddo luno era nga buli kiseera lubadde lwongera kwonooneka.

 Kanaabi asabye abatuuze mu bitundu bya disitulikiti ebirala obutalinda gavumenti na disitulikiti okukola enguudo zaabwe wabula bakole bulungi bwansi ku nguudo zaabwe. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});