Bakutte Paasita ku by’okufera omuko ettaka
Aug 13, 2023
POLIISI e Mukono ekutte n’eggalira Paasita Godfrey Lwanyaga omutuuze ku kyalo Upper Nabuti mu ggombolola ye Mukono. Kigambibwa nti yeekobaana ne mukyala we ne bafera mukoddomi we (mwannyina wa mukyala we) obukadde 95.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI e Mukono ekutte n’eggalira Paasita Godfrey Lwanyaga omutuuze ku kyalo Upper Nabuti mu ggombolola ye Mukono. Kigambibwa nti yeekobaana ne mukyala we ne bafera mukoddomi we (mwannyina wa mukyala we) obukadde 95.
Lwanyaga ow’ekkanisa ya Cornestone Divine Church e Kyawambogo mu Wakiso, kigambibwa yeekobaana ne mukazi we, Harriet Lwanyaga ssaako maama waabwe, Teopista Nalubega Walakira ne bafera Jones Ssentumbwe.
Kigambibwa nti Ssentumbwe yali anoonya ttaka lya kugula kwe kutegeera nti Paasita Lwanyaga ne nnyina (maama wa Paasita) Nalubega balina ettaka lye batunda. Bakkiriziganya era Ssentumbwe yasooka kusasulako obukadde 55 nga yabussa ku akawunti mu Equity Bank ng’eri mu mannya ga Goha (Godfrey and Harriet). Yagambye nti ssente endala yazisasuliranga mu maaso ga looya we okutuusa lwe yazimalayo zonna obukadde 95.
Ssentumbwe yagambye nti ssente zino yatandika okusasulako mu biseera bya Covid- 19, n’azimalayo era nga omwaka guno yabadde ayagala kutandika kukozesa ttaka lye, wabula bwe yalituuseeko n’asangawo abalala abagamba nti baaligula.
Yatandika okunoonya Paasita Lwanyaga n’amwekweka kwe kuddukira ku poliisi e Mukono n’aggulawo omusango.
Paasita yakkirizza okukwata ssente za Ssentumbwe n’agamba nti ensonga bazirimu ne maama waabwe. Yagambye nti kituufu ettaka baalitunda emirundi ebiri, wabula nga kati ensimbi tezikyaliwo.
Ye maama Nalubega yakkirizza nti ensimbi ezaasooka obukadde 55 ye yazifuna kubanga gwali mugabo gwa bba gwe yaleka atadde mu kiraamo. Ku ky’okutunda ettaka emirundi ebiri yagambye nti mutabani we, Lwanyaga y’avunaanyizibwa.
Ssentumbwe agamba nti mu kiseera kino asobeddwa olw’okusiba mukoddomi we, kyokka nga tasobola kuleka ssente ze kufa bwe zityo. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwattibwa kwa Lwanyaga n’aggulwako emisango.
Ettaka lino likunukkiriza mu yiika nnamba
No Comment