Drake Lubega: Mukazi we ayagala ebizimbe ayongedde akazito

Sep 06, 2023

MUK’OMUGAGGA Drake Lubega ayagala okumutwalako ebizimbe 6 mu Kampala wakati ayongedde okumuteekako akazito bw’aggyeeyo ebi­faananyi by’okwanjula, ebbaluwa y’abazadde ne kkaadi kwe baa­teeka emikono bombi nga balaga nti bafumbo.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Bya Joseph Makumbi

MUK’OMUGAGGA Drake Lubega ayagala okumutwalako ebizimbe 6 mu Kampala wakati ayongedde okumuteekako akazito bw’aggyeeyo ebi­faananyi by’okwanjula, ebbaluwa y’abazadde ne kkaadi kwe baa­teeka emikono bombi nga balaga nti bafumbo.

Nagawa bwe yatutte omusango mu kkooti y’amaka etuula e Ma­kindye, Drake Lubega naye yatad­deyo okwewozaako kwe okuli n’ekirayiro kye yakoze ng’agamba nti tabangako mu bufumbo bwonna na Jalia Nagawa Lubega.

Yagambye nti yamuganzaako omwaka gumu gwokka ne baawu­kana oluvannyuma lwa Nagawa okumubulako era ebbanga eryo teyazaala mwana.

Yagambye nti yamumanya na mu mwaka gwa 1992 so si 1984 nga Nagawa bw’agamba mu mpaaba ye.

Drake Lubega era yalaze n’abakazi b’azze abeera nabo mu bufumbo n’emyaka gye yamala nabo nga Nagawa talina waamula­gira nti baaliko mu bufumbo.

Drake Lubega (ku Kkono) Lwe Yayanjulwa Mu Maka G’abazadde Ba Nagawa E Bugerere

Drake Lubega (ku Kkono) Lwe Yayanjulwa Mu Maka G’abazadde Ba Nagawa E Bugerere

Kyokka yagambye nti baaya­galana okuva mu 1992 okutuuka 1993 olwo n’asenguka e Banda gye baali n’agenda e Muyenga gye yasanga Benita gwe yawasa oluvannyuma era ne bagattibwa mu Lutikko e Namirembe.

Oluvannyuma lwa Drake Lubega okwegaana Nagawa nga bw’atabeerangako mukazi we yadde okubaako bizinensi ze bakola bonna, Nagawa aggy­eeyo bwino n’agamba nti okufa n’obutanyagwa, alina okufuna omugabo ku ntuuyo ze kubanga emmaali yonna Drake gy’alina, yagituuyanira.

Mu biwandiiko bye yaggyeeyo mulimu ebbaluwa egambibwa nti yawandiikibwa ffamire ya Nagawa, Drake Lubega bwe yali azaalibwa mu maka ga bazadde ba Nagawa nga June 2, 1984 ku kyalo Muki­seveni ekisangibwa e Nazigo mu disitulikiti y’e Kayunga era wansi kuliko amannya ga Drake Lubega n’omukono ogugambibwa okubeera ogugwe ng’akakasa oku­weebwa omukazi mu butongole.

Nagawa era alaze n’ebimu ku bifaananyi ebyakubibwa ku lunaku olwo wamu n’ebimu ku bi­rabo Drake Lubega bye yatwalira abazadde.

Munnamateeka wa Nagawa, Derrick Lufunya yagambye nti baddayo mu kkooti nga September 7, 2023 okuwulira omusango

Nagawa yaloopye ng’asaba kkooti ewalirize Drake Lubega okumulabirira. Nagawa mu mpaaba yasabye aweebwe ddoola emitwalo etaano (mu za Uganda obukadde 180 buli mwezi).

“Ono twogera ku Drake Lubega, mukazi w’omugagga talina ku­labika nga wa mwavu, wooteeri mw’alidde, emmotoka gy’avuga erina okuba ng’egya mu kitiibwa ekyo y’ensonga lwaki twagala buli mwezi amuwe ssente ezo ezigya mu kitiibwa kye,” Lufunya bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});