Drake Lubega : Lwaki omugagga atandise okutunda ebizimbe bye
Feb 12, 2024
NNAGAGGA Francis Drake Lubega ayogerwako mu kibuga ng’asinga ebizimbe by’amaduuka ebyakazibwako ‘Akeedi’ ate ebiri mu bifo eby’ebbeeyi mu kukolassente, atandise okwetundako ebimu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi Waffe
NNAGAGGA Francis Drake Lubega ayogerwako mu kibuga ng’asinga ebizimbe by’amaduuka ebyakazibwako ‘Akeedi’ ate ebiri mu bifo eby’ebbeeyi mu kukolassente, atandise okwetundako ebimu.
Mu bbanga lya mwezi gumu gwokka, kigambibwa nti Drake Lubega atunze ebizimbe bye 2 olw’embeera y’ebyenfuna egambibwa nti naye etandise okumunyiga ng’abamu ku bagagga abalala abamu bbanka be zitutteko ebizimbe.
Drake amaze ebbanga ng’ayogeza Bannakampala obwama naddala abasuubuzi omuli ne bagagga banne abalina ebizimbe ku ngeri gy’azimba n’okugulamu akeedi z’abagagga banne abazze banyigibwa ebyenfuna naddala bbanka ezibawola ne balemererwa okusasula amabanja.
Mu biseera by’omuggalo gwa Corona, abamu ku basuubuzi yabasalirako kyokka abalala era ne badduka ne bafuluma ekibuga bagende mu bitundu ebikula nga tebinnalinnyisa nnyo ssente za bupangisa nga Nansasa ne Bwaise.
ATUNZE EBIZIMBE 2 MU MWEZI GUMU
Wabula wadde baagenda mu bubuga buno, Drake Lubega nayo yabalumbayo. Yagula poloti mu kifo ekisava obulungi e Nansana ku Masitoowa ne Bwaise okumpi n’ebitaala.
Poloti zonna yazigugumulamu ebizimbe by’amaduuka eby’ebbeeyi nga bisikiriza abasuubuzi okubipangisa n’abaguzi okubiyingira.
Ekizimbe Kye Yatunze E Bwaise
Wabula ebizimbe bino bibadde tebinnaweza wadde omwaka ng’abigguddewo, ate omugagga ono n’abitunda. Kino kyewuunyisizza abantu mu bitundu era ne basigala nga beewuunya omugagga asinga ebizimbe mu Kampala ekyamutuuseeko.
Abamu ku batuuze abaagala enkulaakulana bwe baawulira nti Drake ayingidde ebitundu byabwe ne bafuna essuubi nti Omugagga k’azze mu kitundu kyabwe agenda kusikiriza ne banne baguleyo ekitundu kikule kyokka kyabaweddeko bwe baawulidde nti yabitunze.
1. Omu ku baabadde mu ddiiru y’okutunda ekizimbe ky’e Bwaise, eyasabye amannya gasirikirwe, yategeezezza nti Drake yakitunze obuwumbi butaano. Yakiguzizza omugagga ayitibwa Babu, nga y’omu ku basinga amaduuka g’ebizimbisibwa e Bwaise.
Yalaze nti Drake yennyini ye yabaddewo nga ekizimbe akitunda era ye yatadde omukono ku ndagaano n’ebiwandiiko byonna ebikutula obuguzi. Okusobola okukutula obuguzi, yabalagidde bamusasule ssente zonna mu buliwo, ebitundu yabigaanye. Ekizimbe kino kiyitibwa Zam Zam nga kya myaliiro esatu era nga kisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo okumpi n’ebitaala by’e Bwaise n’essundiro ly’amafuta ga Africa.
2. Ekizimbe ekirala kiri Nansana ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima mu kitundu ekimanyiddwa nga Masitoowa era nga kino kigambibwa nti yakitunze obuwumbi busatu n’ekitundu.
Ekizimbe kino kya myaliiro ena era nga kibadde tekinnaggwa bulungi. Kaweefube w’okwogerako ne Drake yagudde butaka okuva wiiki ewedde kyokka abamu ku baliraanye ekizimbe kino bategeezeza nti baamulaba ye yennyini, Drake ng’alambuza abasajja basatu wabula ye te yafuluma mmotoka, olwo bbo abasajja ne batandika okulambula ekizimbe era waayita ennaku ntono ne babategeeza ng’ekizimbe bwe kyatundiddwa.
Omugagga Drake Lubega musuubuzi amanyi okubala bizinensi era bwe kituuka ku bizimbe ate wa njawulo nnyo, tatera kutunda okuggyako ye okugula ebya banne abafunye ebizibu.
Ensonga eyatunzizza omugagga Drake ebizimbe bino tennategeerekeka kyokka ebbanga ly’amaze, bagamba nti bibadde tebikola nga bwe guli ku biri mu Kampala era bimaze ebbanga nga bikalu ate ng’abagendayo okupangisa bamusasula ssente ntono.
Abamu baakitadde ku byanfuna ebinyize buli muntu omuli n’abagagga ate ng’alina kkampuni n’emirimu egiwera gy’akola.
EBIZIMBE BYA DRAKE
Drake aweza ebizimbe ebisoba mu 30 wakati mu kibuga. Ye nnannyini Energy Centre e Nakasero, S.B PLAZA mu Kiyembe, Majestic Plaza, Money Centre (eyali Mini Price), Qualicel Plaza, Pentagon (awaali olutalo ne mugagga munne Charles Muhangi). Jesco Plaza e Nakivubo.
Ebirala biri mu Kikuubo omuli ne ofiisi ze, mu Kisenyi, ku Lubaga Road, e Wakisekka, ku Ntebe Road, Container Village.
Alina amasomero nga erya Elite High School ku luguudo lw’e Ntebe. Alina kkampuni ezenjawulo okuli ezikuba amayinja, ezikola ssabbuuni, ezikola obuveera ne ffaamu kw’akolera ebintu ebyenjawulo.
Azze agula ebizimbe bya bagagga banne okuli ebya John Ssebalamu, John Bosco Muwonge n’abalala. Drake abadde amanyiddwa nti tatunda bizimbe era bino bye bimanyiddwa by’atunze.
Abamu ku bagagga bagamba nti amaduuka g’ebweru w’e Kampala tegakola ssente kubanga abasuubuzi abanene naddala abava ebweru w’eggwanga omuli Abachina, Abanigeria, Abacongo, Bannakenya, Abasudan, Abayindi ne kkampuni ennene eyo tezipangisaayo era bangi balwanira wakati mu kibuga wadde amaduuka gaamu ga ssente nnyingi.
No Comment