Ensoma empya ey’abayizi ba ssiniya yaakuyamba ku bbula ly’emirimu-mukugu mu kitongole ekirambika ebisomesebwa.
Ng’eggwanga lifumbekedde mu kizibu ky’ebbula ly’emirimu erikudde ejjembe, ng’ebikumi n’ebikumui by’abavubuka abasomye n’abatasomye bali ku nguudo banoonya emirimu tebagiraba beerya nkuta, omukugu mu kitongole ekirambika ebisomesebwa mu masomero ki National Curriculum Developemnt Centre (NCDC) agumizza abazadde ng’ensomesa empya ey’abayizi mu masomero ga ssiniya bw’egenda okunogera ekizibu ekyo eddagala.
Wilson Ssaabavuma, omukugu mu kitongole kya NCDC ategeezezza nti obutamala gasoma wabula abayizi ne n’abasomesa ne bateeka essira ku kusomesa eby’emikono n’obuyiiya mu masomo gonna agasomesebwa kyakuyamba abayizi okufuluma mu masomero nga baliko bye basobola okukola ne batalinda kukozesebwa.
Abayizi nga abalaga byebakoze
“Ensomesa enkadde ey’abasomesa okukola okunoonyereza ne bagenda mu bibiina ne bawa abayizi bbo bye banoonyerezza twagidibizza. Kati omusomesa awa abayizi emiramwa olwo bbo ne batwala obudde nga banoonyereza ne bavaayo ne bye baba bazudde. Ate mu mbeera y’emu, n’abayizi twagala beenyigire mu by’emikono eby’enjawulo nga ku masomero babeera ne ppulojekiti ez’enjawulo ze beenyigiramu,” Ssaabavuma bwe yalambise.
Okulambika kuno yakukoledde ku ssomero lya New Horizons Secondary Vocational School erisangibwa ku kyalo Kikubankima mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ku Lwomukaaga abayizi bwe baabadde boolesa eby’emikono bye basomye n’okukola mu masomo ag’enjawulo ge basoma.
Abayizi ku ssomero lino okuviira ddala ku S.1 okweyongerayo okutuuka S.6 okuleka bye basoma mu kibiina mu nnambika empya eya gavumenti, bano era basoma eby’emikono omuli okukanika emmotoka, okutunga ebyalaani, okutunga engatto, okufumba, okulima, okulunda, okubajja, okwokya ebyuma, okuzimba, eby’amasannyalaze, okusiba n’okusala enviiri, n’ebirala.
Ssaabavuma yategeezezza nti ku mulembe guno, gavumenti eyagala buli ssomero libe nga lisomesa bwe liti abayizi ng’omuyizi owa S2 oba S3 asobola okukanika emmotoka, okubajja, okuzimba n’ebirala nga mu nteekateeka eno, omuyizi ono ssente ne bwe zibuze n’akoma awo, aba tayinza kwevuma nsi.
“Kyannaku okulaba ng’amasomero agamu tegannatuuka ku ssa lino wadde ng’eno gye tuluubirira. Amasomero agamu mu nsomesa empya abayizi gabalukisa mikeeka na bibbo, ekyo si kituufu, kuba ebibbo n’emikeeka bano basobola okubirukira ewaka, twagala bakole eky’enjawulo,” bwe yategeezezza.
Wabula yagasseeko nti gavumenti olw’ensimbi entono, tennabasobozesa kusomesa na kulambika basomesa ku nsomesa empya kuba bangi abasoba ne mu bitundu 60 ku 100, tebannafuna kusomesebwa wabula n’awa essuubi nti nga gavumenti ebawadde ensimbi, baakwongera okutalaaga eggwanga nga balambika abasomesa ku butya bwe balina okukwatamu ensomesa eno empya.
Abayizi nga balaga byebakola mu masannyalaze
Abayizi 135 be baweereddwa ebbaluwa esooka oluvannyuma lw’okukola ebigezo by’ekintole kya gavumenti ekitwala eby’emikono ki Directorate of Industrial Training (DIT) nga babikolera mu S.3 buli mwaka nga baakuguse mu by’emikono mu masomo gonna agasomesebwa.
Irene Tusimiire, addukanya eby’emirimu ku ssomero lino yategeezezza abazadde nti abayizi mu S.1, basoma amasomo gonna ag’eby’emikono nga bwe batuuka mu S.2 olwo baweebwa omukisa okulondako essomo limu lye basimbako essira amalala ne bagalake ng’eryo lye bakolamu ebigezo bya DIT nga batuuse mu S.3, nga kino bazze bakikola okuva mu mwaka gwa 2012.
Peter Buitendijk amanyiddwa ennyo nga Papa, munnansi wa Netherlands addukanya ekitongole kya Noah’s Ark Children’s Ministries Uganda ekiddukanya essomero lino yategeezezza nti kyakubeera kizibu Uganda okuvvuunuka ekizibu ky’ebbula ly’emirimu olw’ensonga nti n’abasomesa bangi abafuluma nga bamaze okusoma essira bakyaliteeka ku nsomesa enkadde kuba nabob we baasomesebwa.
“N’okusomesa mu nsomesa eno esoosowaza eby’emikono kyetaagisa ensimbi eziwerako, ettaka eddene okuba kulina okutuula essomero, ssaako okwewaayo okw’abasomesa ate abalina okuba nga bamanyi eky’okukola,” bwe yannyonnyodde.
Abayizi bakwasiddwa ssatifikeeti zaabwe Sebastian Ssempala nga mukugu atwala eby’okunoonyereza n’okugattako omutindo mu minisitule y’eby’enjigiriza mu kisaawe ky’eby’emikono kiyite Technical Vocational Education Training (TVET) ng’ali wamu ne dayirekita w’essomero Peter.