OMULABIRIZI wa Mukono eyawummula, James Williams Ssebaggala asssizaako emikono abaana abasoba 100 mu kkanisa e Timuna mu Nakaseke n’abasaba okunywerera ku ddiini yaabwe era batambulire mu makubo agaweesa Katonda ekitiibwa.
Ssebaggala nga y’akuuma Obulabirizi bwa Luweero, yasiimye abazadde okuleeta abaana okussibwako emikono kyokka n’abasaba bagende mu maaso n’okubakuliza mu ddiini, empisa n’okubatwala mu masomero basobole okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa.
Abakristaayo yabasabye okwewala ebikolwa by’okweraguza, okutamiirukuka, obubbi n’emirala.