Ekizibu ky'ebbula lya mazzi ab'e Kassanda bakifuuye mu ng'ombe!
Nov 23, 2023
Gavumenti ya Uganda, UNICEF, UK Aid wamu n’abakulembeze b’ekitundu baatandika kampeyini y’okubunyiza amazzi amayonjo okwetooloola disitulikiti nga batandise n’amalwaliro ga gavumenti gonna

NewVision Reporter
@NewVision
Abantu mu disitulikiti y’e Kassanda balaajanidde ebitongole by’obwannakyewa ne gavumenti okubadduukirira basobole okuvvuunuka ekizibu ky’ebbula lya mazzi amayonjo.
Abantu mu disitulikiti eno omwaka 2022 nga guggwaako baamala ennaku 69 mu kalantiini oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde kya Ebola ekyatirimbula abawerako.
Munir Safieldin (ku kkono) owa Unicef, atwala Eby'enkulaakulana Mu Uganda ku British High Commission,phillip Smith Ne RDC Mpalanyi Ku Mukolo Kwe Baatongolezza Amazzi Gano.
Kamisona wa minisitule y’ebyobulamu mu disitulikiti, Herbert Nabaasa, yannyonnyodde nti ebbula lya mazzi amayonjo mu disitulikiti baakizuula nga y’emu ku nsonga lwaki Ebola yasaasaanira ku misinde egya waggulu.
Mu mbeera eno, gavumenti ya Uganda, UNICEF, UK Aid wamu n’abakulembeze b’ekitundu baatandika kampeyini y’okubunyiza amazzi amayonjo okwetooloola disitulikiti nga batandise n’amalwaliro ga gavumenti gonna omusanvu agali ku mutendera gwa Healthy center III.
Amalwaliro agaagaanyuddwa kuliko Makokoto, Buseregenyu, Musozi, Kyansanswa, Nalutuntu, Kijjuna ne Namabaale nga gonna gazimbiddwako ttaapu za mazzi amayonjo wadde abantu bagamba bakyalina obwetaavu obw’amaanyi.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Faheera Mpalanyi Bbosa, yasiimye aba UNICEF ne UK Aid olw’okudduukirira kuno n’ategeeza nti gavumenti egenda kutandikira okwo okulaba ng’amazzi amayonjo gasaasaanira mu bantu.
Kamiisona wa minisitule y'ebyobulamu ,Herbert Nabaasa, Munir Safieldin owa UNICEF ,RDC Mpalanyi ate asooka ku ddyo ye Phillip Smith ow'ebyenkulaakulana mu UKaid, n'abalala nga batongoza amazzi.
Ku lwa UNICEF, Munir Safieldin, yagambye nti baasobola okuba abasaale mu kulwanyisa Ebola kyokka baakizuula ng’obutaabawo bw’ebikozesebwa okwang’anga bizibu nga bino nga biguddewo mu malwaliro naddala amazzi amayonjo ye nsonga oluusi ebiviirako okusaasaanira ku misinde egya waggulu.
Ddayirekita w’ebyenkulaakulana mu Uganda mu UK Aid, Phillip Smith yannyonnyodde nti amazzi ge batadde ku malwaliro gakozesa masannyalaze ga njuba nga gajja kusobola okubaako buli kiseera ate nga baatendese n’abantu abasobola okugaddaabiriza nga goonoonese.
No Comment