Ffamire y’omu ku baazirwanako esattira ku baagala okutwala ettaka lyabwe

Jan 02, 2024

ABA ffamire y’omugenzi omu ku baazirwanako eri mu kasattiro olw’abafere abaagala okubatwalako ettaka lyabwe mu lukujjukujju.Ettaka lino eririko enkaayana lisangibwa ku kyalo Kakuba mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono nga liwezaako obugazi bwa yiika 120.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

ABA ffamire y’omugenzi omu ku baazirwanako eri mu kasattiro olw’abafere abaagala okubatwalako ettaka lyabwe mu lukujjukujju.Ettaka lino eririko enkaayana lisangibwa ku kyalo Kakuba mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono nga liwezaako obugazi bwa yiika 120.

Diriisa Sebuufu, omu ku baana b’omugenzi, Musa Mwanje, yategeezezza nti kitaabwe ono y’omu ku balwanyi abaaleeta Pulezidenti Museveni mu buyinza nti era nga yamuzimbira n’ennyumba ng’ekirabo ky’okumusiima nti wabula mu kaseera kano abafere baagala kubba ttaka lyabwe.
Sebuufu yategeezezza nti mu October w’omwaka guno akabinja ka bakifeesi akaali kakulirwa omugenzi Sobbi kaabalumba ne boonoona ebintu omuli ebitooke, amayumba gaabwe n’ebintu ebirala nti era baasalawo okwekubira enduulu eri abakulembeze nti wabula nga na kati tebafunanga kuyambibwa. Ono yasabye Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga eno abayambe ku bannakigwanyizi abaagala okubba
ettaka kitaabwe lye baabalekera. Juma Bujwala, ng’ono naye mutabani w’omugenzi Mwanje yategeezezza nti oluvannyuma lwa bakifeesi okukoona amaka ge mwe yali asula ne ffamire, kati basula we basanze nti era nga n’obulamu bwabwe mu kaseera
kano buli mu matigga. Nathan Kalumba, omu ku batuuze yategeezezza nti mu kaseera kano nabo ng’abatuuze bali mu kutya olw’ekiyiwamusaayi ekiyinza okubalukawo ku kyalo kino olw’ekibbattaka ekyeyongedde ennyo n’asaba abakulembeze okusitukiramu bagonjoole ensonga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});