UNEB esambajjizza ebiyiting'ana ku mitimbagano ku ky'obutaba na bwenkanya mu ngolola y'ebigezo

Feb 08, 2024

EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwabga ekya National Examinations Board (UNEB) kisambazze ebibadde biyiting’ana ku mitimbagano, nti waliwo obutali bwenkanya bwe kiba kigolola ebigezo by’abayizi ebya’akamirizo.

NewVision Reporter
@NewVision

EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwabga ekya National Examinations Board (UNEB) kisambazze ebibadde biyiting’ana ku mitimbagano, nti waliwo obutali bwenkanya bwe kiba kigolola ebigezo by’abayizi ebya’akamirizo.

Kino kyaddiridde ekiwandiiko ekyabadde kiyitinga’ana ku mikutu gya social Media nga kiraga nti waabaddewo obutali bwenkanya mu kugolola ebigezo bya P7 ebya PLE ebyatuulibwa omwaka oguwedde.

Obubaka buno bubadde bwoleka nti ebitundu bya Uganda eby’enjawulo bigerekerwa obubonero obw’enjawulo abaana kwe bayitira, ate nga abaana bonna batuula ebigezo bye bimu, ekyawanise emitima gy’abazadde bangi.

Akulira UNEB, Daniel N. Odongo agambye nti bino byappa, nga baatuuse n’okukola okunoonyereza ne bazuula omuntu eyasooka okuwandiika obubaka buno obubadde buyiting’ana n’abategeeza nti yabiwandiika mu 2018, wabula ne wabaawo abaakuba ebifaananyi by’obubaka buno ne baddamu nate okubusaasaanya mu mwaka guno.

“Ebigezo bya P7, S4 ne S6 tubitegeka n’okubigolola mu bwesimbu obw’ekika ekya waggulu, mu bwesigwa n’obukugu obw’ekika ekya waggululu ng’ebibadde biyiting’ana bigambo bitabuzi era nsaba abantu bonna obutabiwuliriza. Bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});