UNEB esazizzaamu ebigezo by'abayizi 3,513
Mar 21, 2025
EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kisazizzaamu ebyava mu bigezo bya PLE eby’abayizi 3,513 lwa kwenyigira mu kukoppa.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kisazizzaamu ebyava mu bigezo bya PLE eby’abayizi 3,513 lwa kwenyigira mu kukoppa.
Abayizi abaakoseddwa bali mu masomero 73 agasangibwa mu disitulikiti 27, ng’awamu baasangibwa balagirirwa ate abalala nga beenyigidde mu kukoppa okw’enjawulo.
Akulira UNEB, Dan Odongo mu kiwandiiko kye yafulumizza, yagambye nti abayizi abaakoseddwa tebakkirizibwa kweyongerayo mu S.1 oba okweyongerayo ku mutendera gwonna ogw’Ebyenjigiriza era kye balina okukola kimu, kuddamu kutuula P.7.
“UNEB etegeeza abakulira amasomero ga siniya gonna n’amatendekero amalala obutayingiza bayizi abaatuula omwaka gwa 2024 ng’ebigezo byabwe byakwatibwa abaali basomera mu masomero ag’enjawulo,” Odongo bwe yagambye.
Kyaddiridde akakiiko k’ebyokwerinda aka UNEB okusisinkana abayizi abaali mu masomero gano wakati wa February 11 ne March 4, 2025 ne kizuulwa nga ddala beenyigira mu kukoppa. Amasomero agaakoseddwa gasangibwa mu Buganda, Busoga, Ankole, Bunyoro, Kigezi, Bukedi ne Rwenzori.
No Comment