Abayizi abasoba mu 200 okuva mu masomero ag’enjawulo baayolesezza ebitone mu mpaka z’obuwangwa eziyitibwa ‘Heritage Education Program Competition’.
Bino byabaddewo ku Lwomukaaga nga August 3, 2024 ku Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi.
Abayizi abalenzi n’abawala baayimbye n’okubiibya amazina g’ekinnansi omwabadde; bbaakisimba, muwogola ne nnankasa ate abalala ne bazina embalu ey’Abagisu.

Abayizi nga boolesa ebintu eby'enjawulo
Mu mpaka zino era mwabaddemu emizannyo gy’edda ng’okubuuka omuguwa, omweso n’ekigwo ggumbya. Ate abayizi abalala baasindanye mu ‘debate’ ku mulamwa; My culture promotes equality between boys and girls (obuwangwa bwange butumbula omwenkanonkano wakati w’abalenzi n’abawala).
Ennyimba zaabadde ziraga engeri amawanga ag’enjawulo mu Uganda naddala Abaganda gye baayambalangamu, okuyigga, okukomaga n’okuyiisa omwenge.

Abayizi nga bazina amazina g'ekinnansi
Empaka zaategekeddwa ekitongole kya Cross Cultural Foundation of Uganda (CCFU). Amasomero; St. Mugagga SSS Jalamba, St. Benedicts SSS, St. Marys SSS Nkozi, St. Balikuddembe SSS Mitala Maria ne St. Henry’s SSS Kyagalanyi ze zeetabyemu.
Gye byaggweeredde nga St. Mugagga be baawangudde era essanyu lyababugaanye nga bafuna engule yaabwe n’essente emitwalo 50. St. Marys Nkozi ye yaddiridde n’efuna emitwalo 30 ate yo St. Balikuddembe SSS baabadde mu kyakusatu nga baafunye emitwalo 20. St. Henrys Kyagalanyi yabadde yaakuna nga yaddiriddwa St. Benedicts SSS. Bano, buli ssomero lyafunye emitwalo 10.
Abalamuzi kwabaddeko; associate prof. Laura Ariko Otaala okuva ku UMU, John Phillip Kalyango omutendesi w’amazina n’ennyimba z’ekinnansi ne Fredrick Nsibambi amyuka akulira CCFU.

Abayizi nga boolesa ebitone mu mazina
Nsibambi yagambye nti ennaku zino abavubuka beesambye obuwangwa bwabwe n’ennono nga bagamba nti bibazza emabega kyokka nga be bagenda okufuuka abazadde, abakulembeze n’abakugu enkya. Kino nno Nsibambi agamba nti kyabulabe nnyo eri eggwanga y’ensonga lwaki ekitongole kyabwe kirafuubana okwagazisa abavubuka obuwangwa bwabwe.
“Ne bw’osoma otya oba ofuuwa Oluzungu, osigala oli Munnayuganda. Tosobola kufuuka Muzungu. Tulina okussa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono zaffe,” bwe yagambye.
Nsibambi ayongerako nti obuli bw’enguzi obukudde ejjembe ensangi zino buva ku kuba ng’abantu beesambye obuwangwa, beeyisa nga bwe baagala.

Abayizi nga basanyukira engule gyebawangudde
Tebakyafaayo ne bwe banyaga eggwanga kubanga tewali abagambako ate era tebakyaswala.
Ye Br. Dr. Mark Kiiza okuva ku UMU era nga ye yabadde omugenyi omukulu yakubirizza abayizi okweyisa obulungi yonna gyebabeera baleme kuswaza buwangwa bwabwe. Kyokka era yabasabye baleme kukoppa buli kye basanga wabula balondemu ebirungi, ebibi ebikontana n’ennono zaabwe babireke