Abadde akulira kkooti ya Kisekwa awummudde oluvannyuma lw'emyaka 30 mubuweereza

MMENGO ekiseera kyonna egenda kulangirira Ssentebe wa kkooti etawulula enkayana n’endoliito mu bika oluvannyuma lw’abadde mu bukulu buno, James Mathew Kateregga okusaba okuwummula.   

Katikkiro ng'ayozaayoza Kisekwa
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MMENGO ekiseera kyonna egenda kulangirira Ssentebe wa kkooti etawulula enkayana n’endoliito mu bika oluvannyuma lw’abadde mu bukulu buno, James Mathew Kateregga okusaba okuwummula.

Emisana ga leero, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akyazizza Bammemba ba kkooti eno eyitibwa eya Kisekwa oba eddiiro lya Katikkiro ku ky’emisana ekigendereddwamu okubeebaza olw’obuereeza eri Obwakabaka kati emyaka 11 bukya balangirirwa nga August 13,2013.

Mayiga agambye nti Kisekwa Kateregga amaze emyaka esatu ng’asaba okuwummula olw’emyaka egisukka 30 gyabadde ng’awereeza ku kkooti eno era nga kwakkiriziddwa bwatyo neyebaza banne bonna babadde akola nabo.

Katikkiro ng'ali ne Kisekwa ssaako n'abakungu abalala

Katikkiro ng'ali ne Kisekwa ssaako n'abakungu abalala

“Mbeebaza omulimu gwe mukoze mu bbanga lino.Emyaka ng’esatu emabega Kisekwa (Kateregga) yantuukirira n’angamba nti njagala kuwummula naye nemugamba nti katulabe naye ng’alina okusigala ng’awereeza Kabaka.Mu bbanga eryo akoleddemu bingi,akizzeemu emirundi egiwera,” Mayiga bwayogedde ku mukolo guno ogubadde mu maka ga Katikkiro amatongole Butikkiro e Mmengo.

Ku nsonga lwaki abakyazizza, Mayiga agambye nti “Kale nabayise wano okubeebaza n’okubategeeza nti kisekwa omuggya anatera okulangirirwa mu maasoko awo nammwe okubasibula naye abamu muyinza okudda mwongere okuwereeza ne Kisekwa omuggya gwatunabeera tufunye.”

Bammemba ku kkooti eno Kateregga baabadde akulembera kuliko Lubega Ssebende,Salim Makeera,Samuel Walusimbi, Hajj Jamir Ssewanyana ate n’Omutaka Wilson Ssentoogo-bano nga babaddewo ku mukolo guno. Abatabaddewo kuliko John Mary Kiwuuwa, George Makumbi ne Deogratious Kasozi Walukaali.

Katikkiro Mayiga yebazizza abakungu bano olw’okukolanga okunoonyereza ku misango egy’enjawulo gyebakozeeko nebafuna ekituufu kyokka n’alaga ng’okusomooza okusinga mu kulamula ensonga z’ebika, ly’ebbula ly’ebyafaayo by’ekika okufuna obutuufu bw’ensonga ebeere eri mu ddiiro lino.

“Okusomoozebwa okunene kwetulina mu bika, ly’ebbula ly’ebyafaayo ebiwandiike ebikwata ku bika eby’enjawulo. Emabegawo twalangirira okuwandiika ekitabo ssematabo nga twagala buli kika, kireete ebyafaayo byaakyo tubigatte tufune ettabo, ab’emyaka 500,1000 okuva kati lyebaligoberera kuba omulembe gwetulimu bweguli si gwa ow’oluganda ng’otulabira,” Mayiga bwagambye.

Minisita Cotlida Nakate Kikomeko avunanyizibwa ku nkulakulana y’abantu ba Buganda ne ofiisi ya Maama Nnabagereka nga yakikkiridde Minisita w’obuwangwa n’ennono,Dr. Anthony Wamala, ategezezza nga kkooti eno bweeri ensaale mu kugunjoola endoliito mu bika bwatyo neyeebaza Baminisita ab’enjawulo abakoze n’abawereeza bano.

Mu kwogera kwe ku mukolo guno, Kisekwa Kateregga yeebazizza Kabaka olw’okumuwa omukisa okuwereeza ku kkooti eno emyaka egisoba 30 nga yasooka kubeera mmemba ate emyaka 11 emabega n’afuulibwa Ssentebe waayo neyeyama okusigala ng’awereeza Obwakabaka mu ngeri endala.

Katikkiro Mayiga akwasizza abakulu bano amayinja agabeebaza olw’obuwereeza buno ate oluvanyuma n’abawa ekijjulo