TAATA atutte mutabani we mu kkooti ku by'okumutiisatiisa okumukuba n'okumutta, ayagala Gavumenti emuyambe ku mwana gw'agamba nti amufuukidde ekyambika.
Muzeeyi Paul Kamaali omugagga w'obuwunga e Nalukolongo y'akutte mutabani we Bosco Nsegaimana ng'amulanga kumutulugunya entakera nga ne gyebuvuddeko yamusanze mu kkooti n'amukuba ensambaggere.
Gyebuvuddeko, Kamaali yasibisa mukyala we Verena Bagyenyi mu kkomera ku by'okulemera ebyapa byabwe kyokka oluvannyuma, abaana baafuna enjuyi kwe bagwa olwo ye Nsegaimana n'awumiza kitaawe mu lujudde lw'abantu mu kkooti olw'obusungu kyokka yakwatibwa n'atwalibwa mu kkomera.
Mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo gye baabadde, Kamaali yalaajanidde omulamuzi Adams Byarugaba nti, amutaase ku mwana ayagala ku mutta era ne mu maka yaddukamu dda n'apangisa awalala olw'okutya okumutusaako obulabe.
Mweraliikirivu nti singa ayimbulwa asobola okumutta. Yategeezezza nti omwana yeeyingiza mu nsonga zaabwe ng'abafumbo kyokka nga yamusomesa n'amuwa n'omulimu gw'akola.
Kamaali agamba nti omwana ono amulumba ku kyuma kye eky'obuwunga e Wakaliga n'amutiisatiisa okumuwumiza ky'agamba nti ayagala kikome.
Nsegaimana ng'ayita mu bannamateeka be abaakulembeddwamu Saudah Nsereko, yataddemu okusaba okweyimirirwa wakati mu kulaajanira omulamuzi nga bw'ayigidde mu kkomera okugondera amateeka wamu n'okussaamu abazadde ekitiibwa era nti okukkaanya mu maka kintu kikulu.
Kkooti yamuyimbudde ku bukadde bubiri ezoobuliwo n'abamweyimiridde obukadde 10 ezitali zaabuliwo nga guddamu February 17, 2025 era ku olwo ne nnyina Bagyenyi lw'akomawo okwongera okutabagana ne bba ku by'okulemera ebyapa.
Omulamuzi Byarugaba yamuwabudde eky'omwana obutakuba muzadde kuba be bavaako emikisa era singa agenda mu maaso ng'abayisaamu olugaayu, basobola okumukolimira n'afuna ebizibu.