Wakiso Giants 1-1 SC Villa
Leero ssaawa 10:00
Omupiira guno ogwagguddewo oluzannya olwokubiri olwa liigi ya babinywera, gwabadde mu Kabaka Kyabaggu Stadium e Wakiso nga bannyinimu (Wakiso Giants) baavudde mabega okusuula bakyampiyoni amaliri.Ggoolokipa wa Villa, Norman Angufindru yafiirizza ttiimu ye obuwanguzi obusooka ku bugenyi mu liigi ya sizoni eno, bwe yabuuse okukwata omupiira n’abaka mpewo. Omupiira gwamuyiseeko ne gukuba omuti, Hudson Mbalire n’agukuba mu katimba.
Oluvannyuma, Villa yafunyeeyo omukisa, David Owori bwe yakubye ennyanda ey’obulabe kyokka ggoolokipa wa Wakiso Giants, James Alitho n’agumansula waggulu.
Villa eyasoose okuteeba, yalaze nti teyakyuse nnyo okuva bwe yabadde mu luzannya lwa liigi olusooka, Wakiso Giants bwe yaginyigirizza mu kitundu ekyokubiri era yabadde ya mukisa okufunayo akabonero.
Nga babayunze, omutendesi wa Villa, Morley Byekwaso, yayingizza Ashiraf Mulindi ne Andrew Otim mu kya Charles Lwanga ne Hassan Mubiru kyokka mpaawo kye bakyusizza. Malouda yabugumyemu n’atayingizibwa sso nga ne Moses Oloya, eyeegasse ku Wakiso Giants, gwaweddeko ali ku katebe. Villa yaamunaana ku bubonero 21 ate Wakiso Giants ya 14 ku ttiimu 16.
Leero, Express ekyaza BUL mu Hamz Stadium e Nakivubo sso nga Police ekyalira Lugazi FC e Najjembe mu Buikwe. E Luzira, Maroons erinze Bright Stars, erwanyisa okusalwako.