EKITONGOLE ky'ebibalo nga bakulembeddwamu Omumyuka w'akikulira, Dr. Fred Ssenyonyi akulembeddemu abakungu b'ekitongole kino ne bakiika e Mmengo.
Bano bayaniriziddwa Minisita w'amawulire,Okukunga abantu era Omwogezi w'Obwakabaka bwa Buganda,Israel Kazibwe Kitooke.
Dr. Ssennono asoose kutangaaza ku Kya Maapu etambula ennyo ku mitimbagano ensangi zino nga tekuli linnya Buganda kyokka kuliko ebigambo by'olungereza Central North ne Central South.
Map ya Uganda eraga Buganda
Agambye nti eyo teva mu kitongole kyabwe bwatyo n'akwasa Minisita Kazibwe Maapu zeebakubye oluvanyuma lw'okubala abantu okuli eyo eraga Maapu ya Uganda yonna nga BUGANDA kweri ate n'endala eraga obungi bw'abantu mu buli disitulikiti ng'eraga ebitundu.
Minisita Kazibwe abeebazizza olw'okuvaayo okutangaaza ku nsonga eno ebadde etabudde ennyo abantu ba Buganda naddala abavubuka.
Mu ngeri yeemu ekitongole kino kiwagidde emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka n'obukadde butaano.
Emisinde Gino gyakubeerawo nga April 6,02025 mu Lubiri e Mmengo nga giwaddwa Bukedde ne Newvision empapula za Vision Group, Airtel, I&M Bank, Nivana, UNAIDS, Uganda Aids Commission n'ebitongole ebirala.