Owa Iran ayise America beekube

Apr 07, 2025

GENERO wa Iran ow'oku ntikko agambye nti beetegefu okulwanagana butereevu ne America, singa Trump abaggulako olutalo nga bwe yasuubizza, singa tebakkiriza kuteesa naye ku bya nukiriya.

NewVision Reporter
@NewVision

GENERO wa Iran ow'oku ntikko agambye nti beetegefu okulwanagana butereevu ne America, singa Trump abaggulako olutalo nga bwe yasuubizza, singa tebakkiriza kuteesa naye ku bya nukiriya.

Biddiridde Trump okuwandiikira omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Hosseini Khameneinga ng’ayagala bafune enteeseganya maaso ku maaso, Iran ekomye enteekateeka zaayo ez’okuzimba bbomu nnamuzisa, Ayatollah kye yagaanyi ng’agamba nti bw’aba waakwogera ne Trump balina kufuna nsi eyookusatu wakati waabwe sso si kusisinkana maaso ku maaso.

Omukambwe Wa Iran (wakati) Ne Basajja Be Ng'aliko By'ayogera.

Omukambwe Wa Iran (wakati) Ne Basajja Be Ng'aliko By'ayogera.

Trump kino kyamutabudde n’agamba nti Iran bw’eba ebiyita bya muzannyo, agenda kugiggulako olutalo ebaseeteeze nga Yisirayiri bw'ekoze e Gaza era abamu ku bakulembeze baayo baakugoberera ekkubo lye limu eyali omuduumizi wa Hezbollah, Hassan Nasrallah lye yakwata, kwossa abaduumizi ba Hamas abattiddwa okuva olutalo bwe lwabalukawo wakati wa Yisirayiri ne Palestine.

Mu kwanukula, Ayatollah nga yatumye omuduumizi w’oku ntikko ow’eggye ga Iran, Gen. Hossein Salami yagambye nti Iran nneetegefu nnyo okugenda mu lutalo ne America era singa Trump akola ensobi n’abasuulako bbomu, Abamerica baakukisasulira na musaayi.

Mu bubaka bwe yayisizza ku mukutu gw’amawulire ogwa Islamic Republic News Agency (IRNA), Gen. Salami yagambye nti Iran terina kutya kwonna ku by’okugenda mu lutalo, era balinze Trump abasuuleko bbomu, bambalagane bukanzu.

Ne minisita w’ensonga ez’ebweru mu Iran, Abbas Araghchi yagambye nti enteeseganya za nukiriya Trump z’ayagala okutandika ne Iran tezirina makulu, era bo tebajja kuzeetabamu, okuggyako nga waliwo ensi ezikoze nga etabaganya amawanga gombi.

Araghchi era yagambye nti tasuubira nti Trump by’ayogera abitegeeza kuba ate buli kiseera abatiisatiisa nga bw’ajja okubasuulako bbomu ekiraga nti by’akola byonna bya jjoogo.

Yayongeddeko nti omusajja y’omu okumanya kasobeza, mu 2018, yava mu ndagaano Iran gye yali ekoze ne Pulezidenti Obama ng’ekkirizza okuva ku by’okukola bbomu ya nukiriya. 

Bw’aba eby’endagaano yabigaana ku mulundi ogwo, Araghchi agamba nti ne kati by’ayogera asaaga.

Okusinziira ku kitongole ekirondoola ebya nukiriya mu nsi yonna ekya International Atomic Energy Agency, okuva Trump bwe yava mu ndagaano eno, Iran yeeyongedde okukung’aanya ebikozesebwa okukola bbomu ya nukiriya, era nga kati erina ebimala okutandika.

Yisirayiri ne America balwana bwezizingirire Iran ereme kufuna bbomu ya nukiriya, kuba batya nti Yisirayiri yandisaanyizibwawo abakambwe ba Iran, kuba tebakkiriza nti nsi eyeetongodde.

Olw’obukyayi Iran bw’erina ku Yisirayiri, bagirumiriza okussa ssente mu bubinja bwa bannalukalala obutigomya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});