Bawala bange mukuume ekitiibwa ky’amaka n’abaana bammwe
Apr 08, 2025
MWANA wange owoobulenzi, nalabye muwala wange ng’akuyombesa ng’abaana bawulira era teyatidde nti nange nabadde mpulira. Namutidd era kitegeeza nti ekyo bulijjo akikola ng’abaana bawulira era asobola okukikola ng’omuntu omulala waali

NewVision Reporter
@NewVision
MWANA wange owoobulenzi, nalabye muwala wange ng’akuyombesa ng’abaana bawulira era teyatidde nti nange nabadde mpulira. Namutidd era kitegeeza nti ekyo bulijjo akikola ng’abaana bawulira era asobola okukikola ng’omuntu omulala waali.
Embeera ey’abakyala obutassam mu baami kitiibwa ennaku zino yeeyongedde. Omuntu omukulu olina okussa mu munno ekitiibwa era okuyombesa munno ng’abaana bawulira oba nga waliwo omuntu omulala si kya buntubulamu. Ebintu by’abafumbo birina kuggweera mu kisenge nga muli babiri.
Ate nammwe abalenzi, mwogere n’abawala ku nsonga eno kuba bwe babakolako ekintu ekibi ne musirika, ayinza okuddamu okukunyigiriza. Ate singa abaana abo mubayingiza mu nsonga ezo, batandika okwetemamu era ggwe ng’omuzadde kitegeeza oba otandise okusiga obukyayi mu baana. Ggwe maama, okuyombesa taata ng’abaana bawulira oba oyagala kubasalirawo.
Ate ng’abaana tebaagala kubeera mu maka galimu entalo era nabo baagala mirembe.
Mwana wange owoobulenzi, ebbaluwa eno okusinga yiyo. Muwala wange kye yabadde akuyombesa tekiriimu. Obutaleeta sukaali amala ate nga waliwo abagenyi yabadde ayagala kukuswaza gyendi. Naye nange nkimanyi nti oluusi ssente zibula. Yandibadde akuyita bulungi mu kisenge n’akugamba nti sukaali tamala. Ekirala ng’omukyala omulungi era akola, ekyo osobola okukimala. Era bulijjo twewola ku buduuka sukaali, ng’abagenyi b’otosuubira bazze. Ekyo kya bulijjo era sirowooza nti kintu kinene nnyo bwe kityo. Olaba omukyala ayomba kunsonga ng’eyo kitegeeza nti omusajja abeera ku buzibu bw’amaanyi.
Ggwe ng’omusajja olina okubuulira omukyala bw’atyo nti kye yakoze si
kirungi era kyakuyisizza bubi. Mugambe nti kirina bwe kisobola okuleeta obukyayi mu baana bammwe era omusabe aleme kuddamu kukola
kintu ng’ekyo.
Mmwe abaana aboobuwala mukomye okulengezza abaami bammwe ba bataata b’abaana bammwe.
Abaana abo ekiseera kituuka nebateegera omukyamu n’omutuufu ne bamanya ebikolwa ebibi n’ebikolwa ebikuuma amaka. Bwe bafuuka abakyala oba abasajja abakulu beesalirawo. Naye ate bwe batasalawo bulungi olw’ebigambo byo ggwe omukyala, abaana oba ogenda kubaggya ku kika kyabwe ate ng’e bukojja si waabwe. Buli muntu asobya naye waliwo ebintu ebimu ng’olina kubyesonyiwa kuba naawe toli ‘malayika’ era olina by’osobya munno n’abireka. Bawala bange mukimanye nti abasajja olw’okuba abasinga Mukama teyabawa bigambo bingi, basirika ne beesonyiwa bye balabye. Kati ku buntu obutono nga sukaali w’abagenyi, oba oyombera ki? Okuggyako nga munno tagula
bintu waka osobola okumugambako naye si mu baana. Baana bange mukuume ekitiibwa ky’amaka n’ekitiibwa ky’abaana bammwe
No Comment