Bakunyizza omukugu ku bujulizi bwe yaleeta mu gw’okutta Katanga
Apr 16, 2025
BANNAMATEEKA b’oludda olwawawaabirwa baasoyezza omukugu wa poliisi ebibuuzo ku buganga bw’amasasi bwe yazuula ku kiteteeyi kya Molly Katanga ne muwala we Patricia Kankwanzi

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAMATEEKA b’oludda olwawawaabirwa baasoyezza omukugu wa poliisi ebibuuzo ku buganga bw’amasasi bwe yazuula ku kiteteeyi kya Molly Katanga ne muwala we Patricia Kankwanzi.
Peter Kabatsi, Mac Dustman Kabega, Jet Tumwebaze ne Elson Karuhanga baasinzidde ku bujulizi bwa Dr. Jafar Kisitu bweyawa olwo ne bamusoya ebibuuzo okulaba nga bataasa abantu baabwe ku bibavunaanibwa.
Katanga yattibwa nga November 2, 2023 mu maka ge mu Chwa 11 Zooni Mbuya mu
munisipaali y’e Nakawa nga kigambibwa nti yakubwa essasi ku mutwe ku ludda olwa ddyo ne lifulumira ku ludda lwa kono era mukazi we Molly Katanga avunaanibwa okumutta ate abaana baabwe Martha Kakanzi ne Patricia Nkanzi ssaako omukozi w’awaka George
Amanyire ne Dokita Charles Otai bavunaanibwa okubuzaabuza bujulizi ssaako okukweka omuntu gwe baali bamanyi nti zzizza omusango nga bamuziyiza
okuvunaanibwa. Namwandu ali ku limanda mu kkomera ate balala baayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Oludda oluwaabi lukulemberwa Samali Wakholi, Jonathan Muwaganya ne Anna Kiiza ate abawawabirwa bawolerezebwa Peter Kabatsi, MacDusman Kabega, Jet Tumwebaze ne Elson Karuhanga.
Baaloya baakubye ebituli mu bujulizi bw’omukugu Kisitu eyasooka okutegeeza kkooti
gye buvuddeko nti yasoma n’afuna eddaala ly’obwadokita mu kwekebejja emikka ne kemiko enkambwe n’amaanyi gaagyo ng’obukugu obwo bwebumu bwe yakozesa okuzuula amaanyi g’obuganga bw’amasasi obwasangibwa ku ngoye z’abawawaabirwa ababiri obugambibwa nti bwali bukwatagana n’obwemmundu n’amasasiagatta omugenzi.
Mu kwanukula ba looya ba Nnamwandu, Kisitu yalemeddeko nti enkola ze yeesigamako ntuufu nnyo era zikozesebwa ne mu kusomesa abayizi mu kisaawe ekyo nolwekyo yazuula bituufu era amazima amereere. Yayongeddeko nti emmundu ekika ekyo egambibwa okukozesebwa mu butemu tamanyi oba zikolebwa, kubanga bannamateeka babadde balumiriza nti emmundu ekika ekyo zireetebwa kuva bweru w’eggwanga. Mu bujulizi bwe, Kisitu yategeeza kkooti y’omulamuzi Rossette Comfort Kania awulira
omusango guno ku kkooti enkulu mu Kampala nti obuganga bw’amasasi agatta Katanga bwali bwamanyi nga buliko engeri y’omuliro nga bwokya.
No Comment