Poliisi eyigga bakagwensonyiwa abaasobezza ku maama ng'ali ne muwala we ne bamutta!
Apr 22, 2025
POLIISI eri mu kuyigga agavubuka gakaggwensonyi, agagambibwa okufumbiikiriza maama ng'ali ne muwala we mu kkubo, ne gamusobyako kirindi n'oluvannyuma ne gamutta.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI eri mu kuyigga agavubuka gakaggwensonyi, agagambibwa okufumbiikiriza maama ng'ali ne muwala we mu kkubo, ne gamusobyako kirindi n'oluvannyuma ne gamutta.
Ettemu lino, libadde Bumufuni Cell 1 mu Bugobero Town Council mu disitulikiti y'e Manafwa, agavubuka bwe gasobezza ku Juliet Wabule 28 oluvannyuma ne bamuttira mu lusuku lw'amatooke.
Kigambibwa nti omugenzi abadde ne muwala we ow'emyaka 10 ekiro nga badda awaka, nti kyokka ye omwana, asobodde okudduka n'ababulako , oluvannyuma n'atemya ku batuuze abasanze omulambo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti batandikiddewo omuyiggo gw'abatemu bano n'agattako nti omulambo bagututte mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale , okugwekebejja.
No Comment