Oluguudo lwa Ibanda -Mbarara lusobagana ng’enkuba etonnye
Apr 24, 2025
Oluguudo lwa Ibanda -Mbarara lusobagana ng’enkuba etonnye

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKOZESA oluguudo oluva e Mbarara okugenda e Ibanda bakyasobeddwa olw’ekkubo okwonooneka olw’ebinnya ebijjuddemu.
Mu basinze okukosebwa be bayita mu Rubindi Town Council ng’enkuba bw’etonnya
ebinnya n’ebitaba bikosa abakolera mu kibuga kino. Omu ku bakulembeze b’ekibuga nga y’akiikirira abantu ba Rubindi Town Council, Mwine Rwamafa yategeezezza nti ekkubo lya Mbarara Rubindi Ibanda lyo yeraliikiriza olw’ebinnya ebyeyongedde
nga lufuuse kattiro kennyini kuba tewayita nnaku bbiri nga teruguddemu bubenje.
Ate mu kibuga Rubindi yagambye nti amazzi ganjaalira mu luguudo nga n’emmotoka okuyisihhanya kizibu era aba Bodaboda bangi balufiiriddemu nga waliwo n’omuntu eyatomeddwa n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro ekintu ekyongedde okutiisa abatuuze. Abeho Frances, omuvuzi wa Bodaboda yategeezezza nga ekibuga Rubindi kyokka buli nkuba lw’etonnya abatuuze n’abasuubuzi babeera ku bunkenke ng’olumu bafiirwa emmaali yaabwe. Ekimu mu bisinze okutawaanya abantu mu kibuga Rubindi gy’emifulejje
egyazibikira kyokka ng’obuzibu obulala buvudde ku bakulembeze b’ekibuga obutafaayo.
Ate Erick naye omuvuzi wa Bodaboda yategeezezza ng’abakulembeze bwe batafaayo.
No Comment