GADDAFI FC eyakomyewo mu liigi ya babinywera, yeekengedde okuddamu okusalwako n’etandika okugula abazannyi abanaagisigaza mu ‘Super’.
Yaguze abadde kapiteeni wa Wakiso Giants, Hassan Ssenyonjo ne Steven Munguchi okuva mu KCCA.
Ttiimu y’emu, yasoose kutwala eyali omutendesi wa KCCA, Abdallah Mubiru. Kigambibwa nti mu kwongera okwenyweza, baperereza omutendesi, Livingstone Mbabazi okumwongera ku ttiimu eno.
Gaddafi yasalwako mu sizoni ya 2023/24. Nga bamwanjula, Mubiru yagamba nti Gaddafi pulojekiti nnene eyeetaaga okukwata obulungi.
Mu ngeri y’emu, Maroons FC yakkakkanyizza Muhammad Senfuma amayinja bwe yamuzizza ku kifo ky’omumyuka. Baayanjudde Umar Abdallah Loi ng’omutendesi omukulu. Abdallah abadde mu Malakia SC eya South Sudan.
Maroons yannyonnyodde nti kyavudde ku FUFA kubasaba biwandiiko bya CAF A.