ABAANA 3 abaafiiridde mu muliro ogwakutte ennyumba mwe baabade balekeddwa bazadde baabwe baaziikiddwa wakati mu miranga n’okwaziirana okuva mu b’eng’anda, n’emikwano.
Ellah Namiiro (12), Amani Namulema (5) ne Namujju Tamale (3) baaziikiddwa e Mpala mu Katabi Town Council ku luguudo lw’e Ntebe mu maka gennyini, omuliro mwe gwabasanga mu nju ekiro ku ssaawa 7 ez’ekiro oluvannyuma lwa nnyaabwe okubasibiramu ng’alinako w’alaze. Ssentebe Albert Mugambwa yagambye nti, kibakubye wala okufiirwa abaana abato mu
mbeera bw’eti n’asaba abazadde kukoma okulagajjalira abaana baabwe naddala mu kiseera kino eky’oluwummula okusobola okutangira obubenje nga buno. Omusomesa okuva ku ssomero lya Skyland, Eunice Akite agambye nti, Ellah Namiiro abadde mwana mulungi, alina empisa era nti, omwana ono oluvannyuma kw’okumaliriza ebigezo yasaba bamuleke asigaleyo naye abasomesa ne bamugamba addeyo eka kasita oluwummula lumpi, yali waakuddayo mangu. Rev. Abraham Mulinda okuva mu St. Luke Nkumba, yasaasidde abazadde, abasomesa n’abayizi be babadde basoma nabo n’agamba nti, kino kinene nnyo wabula Katonda y’agaba ate n’atwala. Elvis Ssennono, taata omuto ow’abaana bano nga ye yayogedde ku lwa kitaabwe Leon Kavuma, yagambye nti, wiiki emu eyise baali n’abaana bano mu kuziika n’abawa sswiiti wa cokuleeti nga tamanyi nti, abasiibula. Yasabye
abazadde okulaga abaana baabwe omukwano kuba tewali amanyi kinaabaawo enkeera.