Abatuuze beemulugunyizza ku babbi b'amasannyalaze

Abantu ababadde babbirira amasanyalaze e Kayunga beeronkomye eri ekitongole ki UEDCL baganyulwe mu kisonyiwo ekyateekeddwawo.

Omuti gw'amasannyalaze
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Abantu ababadde babbirira amasanyalaze e Kayunga beeronkomye eri ekitongole ki UEDCL baganyulwe mu kisonyiwo ekyateekeddwawo.

Babadde beeyunga ku masanyalaze mu nkola ya magezi maganda era nga baakozesa bu waya obutono ekintu ekiteeka obulamu mu matigga wamu n'okufiiriza gavumenti.

Aba UEDCL nga bali wamu ne RDC ne poiisi bakubye olukiiko gaggadde ku kyalo Kigayaza mu ggombolola y'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga okusomesa abatuuze ku kabi akali mu kubbirira amasanyalaze n'obutamala gagayingayunga.

Abatuuze nga bemulugunya ku babbi b'amasannyalaze

Abatuuze nga bemulugunya ku babbi b'amasannyalaze

Sauda Najjuma, Sarah Munaaba n'abalala wano we beewereddeyo nti bulijjo amasalaze bagabba era ne basaba ekisonyiwo.

Bano bayungiddwa ku masanyalaze mbagirawo olw'okwatula nti babbi era ne beenenya.

Akulira UEDCL e Kayunga (Manager) Miss Mbabazi Phionah agambye nti bayisizza obubaka ku mikutu gy'empuziganya egy'enjawulo okutegeeza abeeyunga ku masanyalaze mu bubba nti waliwo ekisonyiwo era ssinga omuntu yekuba mu kifuba ne yesonyiwa obubbi bamuyambako okugamuwa mu mitendera emituufu.

Mbabazi agambye nti bweyatalaaga mu disitulikiti y'e Kayunga yasanga e Kangulumira nga bebasinga obuwaya obubbirira amasanyalaze.

Alagidde Bassentebe okuwandiika abaasaba amasanyalaze 

ku mulembe gwa UMEME ne batagafuna mu bagende ku ofiisi ne lisiiti zaabwe bawebwe amasanyalaze.

Mbabazi agambye nti abantu abatalina busobozi kukola wiring abagumizza nti gavumenti esobola okukibakolera era nga kati okweyunga ku masanyalaze okuviira ddala kwabo abeetaaga ekikondo kimu kwa 30,000/-.

 

Abalabudde obutakozesa Bakamyufu wabula bafune abantu abalina satifikeeti babayungire waya mu mayumba gaabwe.

RDC Nalubega yegasse ku batuuze okusiima pulezidenti Museveni olw'enkyukakyuka z'akola mu kitongole ky'amasanyalaze omuli n'okukendeeza ku bisale eri abageyungako ne ssente esisasulwa ago geboota era nga byonna biyamba muntu wa bulijjo.

RDC Nalubega awadde amagezi eri aboota amasanyalaze nti okugakekkereza nga bagolola engoye nyingi omulundi gumu awo tegajja kubalemerera kusasula.

Living Twazagye ayogedde ku bubenje obuzze bugwawo nga buva ku kukubbirira amasanyalaze era n'alabula nti poliisi eri bulindaala okukwata abo abanaalemwa okujemulukuka