OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa asabye abakyala okubeera abasaale mu kusomesa abaana baabwe empisa, eddiini n'okukola emirimu.
Asinzidde mu Mmisa gyayimbye mu keleziya e Kasana ku lunaku abakyala mu ssaza bwe babadde balamaga ku ssaza n'agamba nti abakyala maanyi ga Keleziya amaberyeberye ssonga balina ekitundu kinene kya bakola kunkuza y'abaana n,'enkulaakulana y'amaka
Abasabye okwongera okubeera abayiiya baleme kulindirira buli kimu kuva eri baami baabwe.
Akulira emirimu gy'abakyala mu ssaza lya Kasana Luweero Fr Augustine Mpagi asabye abakyala okwenyigirau mirimu gy'ensi n'egya Keleziya kuba tebakyali bayambi nga bwe gwali edda.
Abasabye okwewala ebitabangula obufumbo bwabwe era babeeko bye beeresa okuweereza Katonda.
Nnantebe w'abakyala mu ssaza lya Kasana Luweero Jacenti Katende agambye nti abakyala beenyigira mu kulima, okulunda, okusuubula, okutunga n'ebirala nga tebakyalera ng'alo.
Era nti batereka ensimbi mu bibiina eby'enjawulo n'asaba bafunirwe entambula okusobola okulambula n'okuwa emisomo abakyala.