GAVUMENTI olumaze okusasula kkampuni ezikola engudo ez'enjawulo mu ggwanga n'eziteekako obukwakkulizo bw'okwongera mu budde bwebakoleramu okusobola okutaakiriza ku budde obwayononebwa nga basizza wansi ebikola.
Kkampuni ezikola zibadde zitutte ekiseera ekikunuukirizza mu mwaka nga zitadde wansi ebikola nga zibanja gavumenti wabula gavumenti ng'eyita mu palamenti yafuna ssente ezaasasudde bonna ababanja.

Gen. Katumba Wamala ng'alambula enguudo ezigenda okukolebwa
"Kituufu gavumenti ebadde erudde okusasula ba kontulakita ate nga nabo ababagabirira ebyeyambisibwa mu kukola enguudo nabo nga babanja," Gen.Katumba bweyagambye
Oluguudo luno mu kuluyiwa kkolaasi omulundi ogwasooka lwalimu okulugezesaako tekinologiya ow'enjawulo mu kuzimba enguudo omwali n’owa ppeeva.
Gen. Katumba yasanyukidde omulimu ogwakakolebwa ku luguudo luno nga guli ku bitundu 60 ku 100 wadde nga wabaddewo okulwawo okubasasula .
Ye Richard Kizito Meeya wa Semuto Town Council yagambye okukola oluguudo luno kwongedde okusitula embeera y'ekitundu nga kati abantu bazimba