Mukaweefube w'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka, poliisi enyinyitidde n'ebikwekweto byayo okukwata abagambibwa okuba emabega w'obubbi n'ettemu.
Abakunukkiriza mu 150, bebayooleddwa mu Kampala , Mukono ne Wakiso era ng'abamu basaangiddwa n'ebigambibwa okuba enjaga.
E Mukono Naggalama 13 bakwatiddwa e Kabembe, n'ebigambibwa okuba enjaga.
E Kabalagala, Nsambya, Kansanga ne Kibuli 125 be bayooleddwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti bakyanoonya abalala