Ebya Male Mabirizi bikalubye oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu okusaba kwokweyimirwa.
Ensalawo ya kkooti kiddiridde oludda oluwabi okusaba kkooti okusazaamu okusaba kwabwe olw'ensoonga ya Mabirizi obutabeera na kifo kituufu kiraga wabeera.

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti
Ku nsonga ya Mabirizi obutaba na ndagamuntu yateekayo ennamba wabula Nin eyo terambika bulungi nti ono alina endaga muntu.
Wabula Mabirizi taliinze munnamateka we kumaliriza kusaba nategeeza nga bwayagala omulamuzi ave mu musango ggwe kuba kati yakakulungula ennaku 31 mu kkomera bukyanga aggulwako misango.
Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga March 20,202 okumanya wegunaaba gutuuse wamu nokutandika okuwulirwa.
Mabiriizi avunaanibwa emisango 4 okuli egyokusaasaanya obubaka abukyamu wamu n'okusiga obukyayi bweyakozesa ebyuma bi kaimagezi nga agamba nti Ssabalamuzi w'eggwanga Flavian Zeija n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana bali wanguzi.