Amawulire

Omukazi eyeefudde omusawo abbye omwana ow'emyaka 3 mu ddwaaliro e Kassanda

Wabaddewo akasattiro, omukazi bwe yeefudde omusawo mu ddwaaliro, n'abulawo n'omwana omuwala ow'ennaku essatu.

Omukazi eyeefudde omusawo abbye omwana ow'emyaka 3 mu ddwaaliro e Kassanda
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Wabaddewo akasattiro, omukazi bwe yeefudde omusawo mu ddwaaliro, n'abulawo n'omwana omuwala ow'ennaku essatu.

 

Bibadde mu Kiganda Health Center 4 e Mubende, omukazi bw'abbye omwana omuwala abadde atwaliddwayo okumujjanjaba.

 

Kino kiddiridde Joachim Muhindo ne mukyala we, Ruth Nalubwama okuva e Katosi cell mu Kiganda town, okugenda n'omwana omuwala ow'ennaku essatu mu kifo ekyo afune obujjanjabi.

 

Abasawo, baamusoosezza mu kasenge k'abayi ennyo, oluvannyuma ng'akubye ku matu, ne bamuzza mu waadi endala.

 

Ku Ssande, omukazi eyeefudde omusawo, yayingidde mu waadi nga yeefuula akebera amabaluwa n'okubuuza ku balwadde .

 

Nti bwe yatuuse awali omwana n'abeera ng'amwekebejja nti kwe kugamba nnyina ng'embeera y'omwana bwet aabadde nnungi era n'amuwa 10,000/ agende mu famase agule eddagala bongere okumujjanjaba.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti yagenze okudda, ng'omukazi abuzeewo n'omwana era nga ne kati bamuyigga.

Tags:
Amawulire
Ruth Nalubwama