SIPIIKA wa Palamenti Jacob Oboth Oboth asabye gavumenti okuyimiriza ekiragiro ekyayisiddwa ku kutunda, okukozesa, okwokya n’okutambuza amanda.
Ekiragiro kino ekigaana era ekizingiramu okukwata buli muntu yenna eyeenyigira mu kwokya, okutunda, okutambuza, oba okukozesa amanda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Agambye nti tawakannya nteekateeka eno kyokka simweteegefu kulaba babaka be nga bakwatibwa poliisi olw’amanda kubanga akimanyi nti nabo bagakozesa.
Oboth okuvaayo ku nsonga eno kiddiridde bannayuganda, abasuubuzi b’amanda abagokya n’abagatunda okutandika okutuula obufoofofo oluvannyuma lw’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke okuvaayo n’alabula nga poliisi bw’egenda okukwata emmotoka zonna ezinaasangibwa nga zitambuza amanda n’emmotoka ez’obwannannyini.