KKAMPUNI y’ennyonyi eya Uganda Airlines erangiridde omukyala asookedde ddala okuvuga ennyonyi ezisaabaza abantu.
Nasirimbi ye mukazi munnayuganda ow’okubiri mu kuvuga ennyonyi ekika kino ng’ono yeegasse ku Brig. Rebecca Mpagi omukazi eyasookera ddala okubonga ennyonyi z’amagye n’okuzikanika.
Ab’ekitongole ky’ennyonyi mu ggwanga bagambye nti eddaqala Nasirumbi ly’atuuseeko lyakwenyumirizza eri abaana ab’obuwala abalina ebirooto ebinene.
Nasirumbi yaweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukulira enzirukanya y’emirimu gy’ennyonyi ya Uganda ekika kya Mitsubish CRJ900, ng’eno esaabaza abantu mu mawanga ag’enjawulo.
Ono era agenda kuba avunaanyizibwa ku nneeyisa y’abakozi b’oku nnyonyi n’eng’endo zaayo zonna n’okukwasisa amateeka agafuga ekitongole ky’ebyennyonyi.
Nasirumbi yeegatta ku kitongole ky’ebyennyonyi mu 2019, nga Uganda Airline ezzeemu okukakkalabya emirimu gyayo.
Ono w’aliiridde ogufo guno ng’ekitongole ky’ebyennyonyi kiri mu kaweefube w’okwagazisa abakazi okwettanira okubanguka n’okukuguka mu by’ennyonyi.
Abakazi abalala Bannayuganda abeegulidde erinnya mu kuvuga ennyonyi kuliko Capt.Vanita Kayiwa n’abalala.