Isabella Atuhire eyabba essimu ya kaasitooma we eyali amuguze okumusanyusa mu loogi, omulamuzi amulagidde asasule engassi ya mitwalo 50 bwe zimulema bamusalire emyaka 2 mu kkomera!

Atuhire gwe baasibye
Atuhire yakkiriza okubba essimu ekika kya iPhone 12 eyali ebalirirwamu obukadde 6 eyali eya Nduka Chebueze eyali amuguze beesanyuseemu kyokka n’akalambira nti Chebueze yamukasukira 2,000/- zokka bwe yamusaba okwambala akapiira ka kalimpitawa n’agaana, naye kwe kukwatibwa obusungu.
Omulamuzi Nicholas Aisu agambye bwe zimulema bamusibe emyaka ebiri.