Gavumenti eyongezza ssente zonna ezeekuusa ku by’ettaka ng’ezisinga zikubisiddwamu emirundi egiwera ku basaba ebyapa, liizi, okukebera ebiwandiiko, okuteekako envumbo, okukyusa ebiwandiiko (transfers) n’ebirala.

Minisita W'ebyettaka N'amayumba, Judith Nabakooba Ng'akwasa Abatuuze B'e Rwampara Ebyapa.
Ekiwandiiko Bukedde kye yafunyeeko ekiriko omukono gw’akolanga omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ebyettaka, Dr. Emmanuel Mugunga ekiriko ennaku z’omwezi nga September 1, 2026 kyasabye omuwandiisi w’enkalakkalira enkyukakyuka aziweereza mu ofiisi y’omuwabuzi wa Gavumenti mu by’amateeka (Solicitor General) n’oluvannyuma ziteekebwe mu nkola.
Okulinnyisa ebisale baatunuulidde enkyukakyuka ezizze zibeerawo mu by’enfuna by’eggwanga, ssente ze basaasaanya okutuusa obuweereza, eby’amateeka, enkyukakyuka mu by’ekikugu awamu n’okuyamba Gavumenti okwongera ku nnyingiza.
Omwogezi wa minisitule y’ebyettaka, Denis Obbo, yagambye nti ebisale ebisabibwa mu kiseera kino byakoma okukyusibwa mu 1998 wadde nga bingi ebizze bikyuka mu nkola y’emirimu n’embeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga.
Ebisale bikwata ku byapa byonna okuva ku byasooka okufuluma mu 1908 awamu n’enkyukakyuka ezizze zibikolwamu, kw’ogatta n’ebyapa bya liizi ne freehold.

Dennis Obbo Ng'ayogera.
EBISALE EBIPYA
Ssente z’okufulumya ekyapa kya Mailo zaalinnyisiddwa okuva ku 10,000/- okudda ku 50,000/- nga ssente zino zibadde zaakoma okulinnyisibwa mu 1992. Kyokka okuva olwo ebikozesebwa bizze birinnya nga n’omutindo gwennyini guzze gwongerwako okwewala ababicupula.
Okufulumya ekyapa kya freehold ekigabibwa ku ttaka lya Gavumenti kwakyusiddwa okuva ku kitundi 1 ku 100 eky’omuwendo gw’ettaka okudda ku kitundu 1 ku 100 ekya ssente eziba zisasuliddwa mu kugula ettaka.
Okufulumya buli kyapa kya liizi, omuwendo ogusasulwa gujja kukubisaamu emirundi 20 ku bungi bwa ssente ezisasulwa ng’obusuulu obwa buli mwaka. Ettaka lya liizi lisasula omusolo gwa mirundi ebiri okuli Premium ezisasulibwa omulundi ogumu awamu n’obusuulu obwa buli mwaka.
Omuntu asangiddwa ku ttaka eryayitibwanga eya Gavumenti, naye nga talina kyapa, bw’akisaba okukifuna asasula ssente za bitundu 5 ku buli 100 ez’omuwendo gw’ettaka.
Bwe wabeerawo ensobi eyakolebwa ku kyapa eyeetaaga okutereeza okugeza mu mannya, nnamba ya poloti n’ensobi endala, okutereezebwa osasula ekitundu 1 ku buli 100 eky’omuwendo gw’ettaka.
Kyokka ensobi bw’ebeera ntono nga yakolebwa omupunta oba ofiisi y’ebyettaka, okugitereeza ebisale bibeera bya 0.5 eby’omuwendo gw’ettaka nga terinnaba kukulaakulanyizibwa.

Minisita Ntabazi
Okusasula okukyusa ekiwandiiko kyonna mu ngeri ya ttulansifa, okufuna liizi, okwawulamu, okusazaamu liizi ng’oyagala ofiisi ekebere mu biwandiiko byayo okukakasa nti kyakoleddwa mu mateeka ojja kusasula 50,000 okuva ku 10,000.
Ekiwandiiko kyonna ekisaba okwawuzaamu ettaka ery’enjawulo oba ng’oyagala ligattibwe libeere wamu olina okusasula 50,000/- okuva ku 10,000/- eziriwo. Ssente zino ozisasula ku buli kiwandiiko ky’oteekayo okusaba.
Singa obeera oyagala okwawuzaamu ettaka ofunemu poloti eziri wakati w’emu okutuuka ku 10, okukikakasa osasula 20,000/-. Kyokka poloti bwe zibeera zisukkamu okuva ku 11 okutuuka ku 50 osasula 50,000/-.
Singa obeera olina ekiwandiiko ky’oyagala okukolako naye nga kijja kukwetaagisa akulira ofiisi z’ebyettaka okuweereza obubaka ng’ayita ku mail oba posta obeera olina okukisasulira 20,000/- okuva ku 5,000/-. Kino kikwata ku bantu ng’abaagala okuggya envumbo ku ttaka, kuba abaagiteekako babeera balina okusooka okutegeezebwa era ne bategeezebwa n’ennaku mwe kigenda okukolebwa.
Singa ekiwandiiko ky’obeera otaddeyo ng’osaba ekintu nga liizi oba okugabanya mu liizi, kibeera kitwala empapula za mirundi esatu, buli lumu olusasulira 5,000/- okuva ku 2,000/-.
Okusaba liizi n’okugiggyako buli kimu okisasulira 30,000/- okuva ku 10,000/- ezisabibwa mu kiseera kino. Singa obeera osaba okufuna ekyapa eky’enjawulo (Special title) ng’ekikadde kibuze, osasula 200,000/- okuva ku 15,000/-. Kyokka ssente zino tekuliiko 300,000/- ez’okulanga mu kyapa kya Gavumenti ekya Gazette.
Singa wabeerawo ekiragiro ekiyisiddwa kkooti okukyusa mu by’ettaka buli kimu okisasulira 30,000/-. Mu mbeera y’emu era bw’oba oyagala okuggyawo ekiragiro ky’ekimu era osasula 30,000/-.

Ekyapa bwe kifaanana.
Kyokka bw’obeera olina ekintu ky’osaba okutereeza ku kyapa buli kumu kwalinnyisiddwa okuva ku 15,000/- okudda ku 50,000/-. Bw’obeera olina ekintu ky’oyagala okukebera okuzuula okugeza block, plot oba erinnya ly’oluguudo ogenda kusasula 20,000/- okuva ku 10,000/- ezibaddewo. Kyokka okukebera bw’oba oyagalirako ebbaluwa ekakasiddwa ng’eriko ne sitampu osasula 30,000/-.
Ebiwandiiko by’osaba bw’oba oyagala bibeereko ne sitampu buli muko ogusasulira 5,000/- okuva ku 2,000/- ezisabibwa mu kiseera kino.
Okufuna ebyapa ebikadde ennyo ebitaliiko Block ne plot nga tebiriiko provisional certificate, final certificate, Mailo Register Volume n’ebirala nga kuliko ekiragiro kya kkooti osasula 100,000/-.
Okukebera ebiwandiiko by’ebyapa ebikadde nga waliwo ekiragiro kya kkooti nga tebiriiko bintu nga provisional certificate ne final certificate osasula 200,000/-. Ezigenderako nga certificate of claim ya 50,000/-, provisional certificate ya 50,000/-, final certificate ya 50,000/- ate Mailo register Volume and Folio ya 50,000/-.
Buli lupapula ku biwandiiko by’ekyapa ekikadde ennyo lw’oba oyagadde bakukoonereko sitampu olusasulira 5,000/-
Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Harriet Ntabazi yagambye nti eky’okufulumya emiwendo abantu ne bagimanya kikulu nnyo kuba kijja kubawonya abafere ababadde babaggyako obutitimbe bwa ssente okubafunira obuweereza.
Yagambye nti abantu abamu babadde basasula abapunta, bannamateeka n’obukiiko bwa disitulikiti ssente eziri mu bukadde ate nga tezituuka mu Gavumenti.
Ntabazi yabyogeredde mu disitulikiti ye Sheema n’agamba nti ekirungi ku bisale ebipya omuntu asobola okusasula ng’ayita ku ssimu kasita agenda ku kibanja ky’omutimbagano.
Yagambye nti minisitule erina entegeka z’okuwandiisa abapunta b’ettaka bonna mu ggwanga emanye ebibakwatako basobole okulondoola bye bakola obulungi.
Ntabazi yalabudde obukiiko bw’ettaka, obwa disitulikiti obutasaba bantu ssente za njawulo nga babatuusaako obuweereza kuba kimenya mateeka.