Poliisi e Mpigi, ekyagenda mu maaso n'okuyigga omutwe gw'omusajja eyattiddwa e Kammengo.
Wabula poliisi yasobodde okuzuula ekiwuduwudu ky'omugenzi ne kitwalibwa mu ggwanika e Mulago okukyekenneenya nga bwe banoonya omutwe gw'omuntu oyo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti basuubira okukola DNA ku mugenzi okuzuula ekituufu oba nga ddala ye mugenzi ayogerwako , nga bwe bayigga abaamusse.