Amawulire

Agambibwa okwenyigira mu kubba, okutta n'okusobya ku bakazi akwatiddwa n'akkiriza emisango!

Omusajja omulala agambibwa okubeera emabega w'ebikolwa by'okutta, okubba n'okusobya ku bakazi e Kazo ne Ibanda, akwatiddwa.

Agambibwa okwenyigira mu kubba, okutta n'okusobya ku bakazi akwatiddwa n'akkiriza emisango!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja omulala agambibwa okubeera emabega w'ebikolwa by'okutta, okubba n'okusobya ku bakazi e Kazo ne Ibanda, akwatiddwa.

 

Ayubu Boogere 28, gwe bakwatidde okuva mu Independence Park e Mbarara era nga kigambibwa nti akkirizza okwenyigira mu kutemula abantu bana ab'ennyumba emu e Rwesambya mu ggombolola y'e Keruhangira e Ibanda nga Aug 28,2026.

 

Kigambibwa nti ku bano babiri okuli Margaret Kenguudo ne Antony Kwesiga, baafiira mu ddwaaliro e Mbarara nga n'ababiri bakyagenda mu maaso n'okufuna obujjanjabi.

 

Kigambibwa era akkiriza nga bwe yasobya n'okutta Rashida Asiimwe e Bulemba Kazo ne bamunyagako n'ebintu bye yalina nga August 27,2026.

 

Abalala abakwatiddwa , kuliko Nickson Tumusiime amanyiddwa nga Kabuto, Charles Ssebulime, Deos Mujunansi wamu ne Frank Mugisha Muhima ne Apofia Asaasira nga bano bombi, bagambibwa okwenyigira mu kugula ebibbe.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti okuyigga abalala n'okunoonyereza, bigenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Bakazi
Kubba
Kutta
Kukkiriza
Kitalo!