MINISITULE y’ebyentambula erabudde abattakisi eziri mu mbeera embi abaziggyayo mu kiro ne zitambuza abasaabaze.
Ku mmotoka 531 ezaakwatibwa, we lwatuukidde olwa October 15, 2026, nga 423 ezaakebeddwa e Namanve ne Kawanda tezituukiriza bisaanyizo (79.7%). Ezaabituukirizza zaabadde 108 (20.3 %).
Takisi ezitaayise mwabaddemu ezitasiba bulungi, ezitaweta, ezaggwaako emipiira, ezitalina mataala n’ebirala ng’okuzitambuliramu oba otadde bulamu bwo mu katyabaga.
Minisitule erabudde abavuga ne bannannyini takisi obutaddamu kuzikozesa mu kiro kuba ebikwekweto bya poliisi biriwo okukendeeza bubenje obuva ku bidduka Mu ngeri y’emu, minisitule yalangiridde ng’ennaku 60 ze yali yassaawo nga ezobuwaze okukebereramu mmotoka ezitambuza ebizimbisibwa omuli ne Sinotruck nga bwe zaaweddeko.
Okukebera okwalangirirwa nga August 17, kwaweddeko nga October 16. Kyaddirira obubenje obulimu ebimotoka ebinene okweyongera abantu ne bafa.
We lwatuukidde nga October 15, loole 492 ze zaakakeberebwa ng’ezaayise zaabaddeko 390 (79.3%) ku 100 ate ezitaayise ziri 102 (20.7%).
Baakabedde okusiba, okuweta, emipiira, amataala, omukka n’ebirala. Minisitule yalabudde nti ebimotoka byonna ebinaasangibwa nga tebirina bbaluwa ekakasa nti byakeberebwa tebijja kukkirizibwa kutambulira ku nguudo.
ABATTAKISI SI BASANYUFU
Abattakisi bennyamivu ku bye bawulira nti minisita ayagala kuddamu kulangirira bikwekweto ate nga baamuwandiikira dda abayambe ku mmotoka ezikyalemeddwa okutuukiriza ebisaanyizo.
Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya UTOF, Mustafa Mayambala yagambye nti minisita yabasaba olukalala lwa mmotoka ezaali zikoleddwa kyokka nga ziyinza obutatuukiriza bulungi bisaanyizo era baazimuweereza kyokka kati gugenda kuwera mwezi tewali kye yali abayambye.
Yagambye olwo olw’okuba bakozesa sipeeya mukadde, emmotoka zaabwe empya ze bakanise bwe bazituusa ku lunnya lwa poliisi teziyita kuba ebyuma ebikebera biziraga nga enkadde.
Ku ky’ebikwekweto by’ekiro, Mayambala yagambye nti bya bulabe kuba bisobola okuvaamu obubenje nga baddereeva badduka era n’ababbi bayinza okukozesa omukisa guno ne basuula emisanvu egyabwe.
Mayambala agamba basomesezza baddereeva okukanika mmotoka nga tezinnakwatibwa era bangi babawulirizza.