Enkalu mu Kampala nga bawunzika kampeyini leero
Jan 12, 2021
EBIFO by’obubaka bwa Palamenti bye bisingako enkalu mu Kampala era abeesimbyewo bafungizza ku lunaku olusembayo olwa kampeyini okukakasa nti bannyikiza kakuyege anaabatuusa ku buwanguzi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
EBIFO by’obubaka bwa Palamenti bye bisingako enkalu mu Kampala era abeesimbyewo bafungizza ku lunaku olusembayo olwa kampeyini okukakasa nti bannyikiza kakuyege anaabatuusa ku buwanguzi.
Ku ssaawa esembayo, abamu ku beesimbyeewo bakozesezza obukodyo obw’enjawulo omuli n’okumetta be bavuganya nabo enziro okukendeeza emikisa gyabwe egiwangula.
Mu Kampala ekisinze okutambulirwako kwe kulumba abatadde ensimbi ennyingi mu
kalulu kano nga bakibateekako nti baziggya mu bamafi a abalina ebigendererwa ebitakwatagana na biruubirirwa by’abalonzi.
Abalala abeesimbyewo kumpi buli omu alina enkizo ku munne nga kati ekirindiddwa bwe bungi bw’obululu buli omu bw’anaafuna okusalawo anaawangula ekifo.
KAMPALA CENTRAL
Akakiiko k’ebyokulonda kaawandiika bataano abeesimbyewo, kyokka ku Muhammad Nsereko ne Fred Nyanzi be basinga okuba ku mbiranye. Cedric Babu Ndilima
(NRM), Harold Kaija (FDC) ne Ronald Ssenkubuge owa ANT nabo bafungizza okwenyiga mu kibalo.
Abamu Ku Beesimbyewo Mu Kampala.
Muhammad Nsereko; Ye mubaka w’ekitundu okumala ebisanja bibiri nga yasooka kuwangulira ku kaadi ya NRM ate mu kisanja kino n’akomawo nga talina
kibiina, kyokka nga mu Palamenti ali mu Gavumenti y’oludda oluvuganya.
Ono okumwogerako ng’alina emirandira mu bantu olw’engeri gyalwanirira ensonga z’abasuubuzi ng’azituusa mu Palamenti.
James Miiro omusuubuzi w’oku Mutaasa Kafeero yagambye nti ekimwagaza Nsereko
lwa nsonga nti buli lwe babeera n’okunyigirizibwa abasitula n’abatwala mu Palamenti
n’azanjulayo nga balaba.
Daudi Lwanga kansala ku lukiiko lwa KCCA yagambye nti kijja kuba kizibu okusiguukulula Nsereko kuba tava mu bantu.
Fred Nyanzi owa NUP
Amaanyi ge gamuli mu kibiina kya NUP ekikulemberwa muganda we Robert Kyagulanyi Ssentamu. Aludde mu by’obufuzi bya Kampala kuba yaliko ssentebe
wa Contafrica zooni e Kamwokya okumala ebbanga.
Kyokka emirundi gy’agezezzaako okuwanvuya ekigere okwesimbaku bifo ebisukka ku bwa kansala azze awangulwa.
Kyokka ku mulundi guno olw’okuba atambulira ku lusegere lwa Bobi Wine kisuubirwa
okumwongeramu embavu.
Cedric Babu Ndilima (NRM)
Amaanyi okusinga gamuli mu kaadi ya kibiina era olw’okuba NRM tekola bubi mu
Kampala Central singa abanyweza ajja kuteekawo okuvuganya okw’amaanyi.
Amaanyi ga taata we Francis Babu ne bye yakola ng’akyali mubaka bimuyambyeko.
Alina obuwagizi mu bifo by’abakungu nga e Kololo, Summit View wewaawo ng’eno abalonzi batono bwobageraageranya n’abalonda mu Kisenyi.
Abalala abali mu lwokaano kuliko Horold Kaija (FDC) ne Ronald Ssenkubuge owa ANT abalabika nga babulamu okunnyikiza emitima gy’abantu.
Na Bano Battunka.
Balimwezo, Kabaziguruka ne Ruhindi battunka e Nakawa East
ENKALU ziri wakati wa Ronald Nsubuga Balimwezo (NUP), Michael Andrew Kabaziguruka (FDC) ne Frederick Ruhindi (NRM).
Balimwezo ye mmeeya w’e Nakawa era ali nnyo mu bantu era ayimirira nabo mu mbeera yonna.
Rosemary Nakiganda ow’e Mutungo yagambye nti talyerabira Balimwezo bwe yeekiika mu maaso ga tulakita ya KCCA eyali eyagala okusenda abakolera ku kkubo.
Kuno bw’ogattako n’okugulira abatuuze ambyulensi n’okuba nga y’alina kkaadi ya NUP ne kimwagaza abavubuka.
Kyokka abatamuwagira bagamba taweweera ngalo.
Kabaziguruka omubaka w’ekitundu naye ayongedde amaanyi mu kakuyege ng’atambula nju ku nju. Abamuwagira bagamba nti wadde nga yasooka kufuna bizibu
ng’obubenje n’okumusiba kyokka abaddewo ku lwabwe naddala okubafunira ambyulensi.
John Katende ow’e Luzira yagambye nti yamwewuunya okumuleetera ku kagaali n’alonda ng’awakanya okujja ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Mu biseera by’omuggalo yagabira abantu emmere, agogodde emyala n’enzizi n’okulwanyisa
obumenyi bw’amateeka era yagula ne ambyulensi.
Fredrick Ruhindi (NRM) naye mu kibalo akyalimu kuba yaliko omubaka w’ekitundu era wakyaliwo abamwenyumirizaamu.
Asuubirwa n’okufuna obuwagizi bw’ekibiina kuba e Nakawa kirinayo obuwagizi.
Abalala abavuganya kuliko; Job Mutungi Katuramu, Ronny Charles Keeno (DP), John Mbadhwe ne Elisha Mugisha Mukiibi.
E MAKINDYE WEST MULIRO
Ssenyana
EKIRI e Makindye West kikyali kizibu okumanya asinza amaanyi kuba okuvuganya kwa maanyi wakati wa Allan Ssewanyana (NUP) aliko, Farouk Ntege ne Achiilles
Lubega owa NRM.
Kato Kafumbe, kkansala w’omuluka gwe Bukasa ku munisipaali y’e Makindye agamba nti Sewanyana akyalina amaanyi mu bavubuka olw’okuba ali ku kkaadi ya NUP era ng’afubye okutumbula eby’emizannyo. Kyokka abatamuwagira bagamba takomyewo mu bantu.
Farouk Ntege azimbira ku bantu abanyiivu eri Ssewanyana. Wadde talina kibiina,
kyokka abalonzi bamumanyi nti wa NUP ataafuna kkaadi.
Achilles Lubega (NRM) ataddewo okuvuganya okw’amaanyi ng’azimbira ku kibiina era tebaliimu kweyawula. Abadde mu bantu kuba yavuganya mu 2016 n’awangulwa
ate ne mu ssente tali bubi.
Abalala kuliko; Experito Kizito, Kassim Kyazze (ANT), Bosco Lusagala
(DP) ne Abubakar Sserunga.
Ssenyonyi Ne Zziwa
KAKANDE, SENNYOYI NE ZZIWA BALWANIRA NAKAWA WEST
E Nakawa West abavuganya bali 14, kyokka ng’embiranye eri wakati wa Paul Kenneth Kakande, Joel Ssenyonyi owa NUP, ne Margaret Zziwa owa NRM.
Kakande afubye okwetunda mu bantu ng’abasaba bamukwatirwe ekisa ku mulundi
guno bamulonde era bangi abamukwatirwa ekisa. Bakyesigamya ku mirundi emingi
gye yeesimbyewo ng’agwa.
Ssenyonyi amaanyi gamuli mu kaadi ya NUP era kino kimuwanguzza emitima
gy’abavubuka egiwera. Kyokka waliwo abagamba nti ng’oggyeko okumuwulira ku
mikutu gyamawulire tebamulaba mu balonzi wansi.
Margaret Nantongo Zziwa (NRM) mu kibalo mwali olwa bannakibiina kya
NRM abagundiivu abamuwagira wamu n’obumanyifu bwalina. Waliwo n’ebibiina
by’abakyala ebimufi irako nga bagamba we yabeerera omubaka wa Kampala
aliko bye yakola.
Kyokka ate waliwo abagamba nti aweerezza ekimala takyetaaga kuddamu kulwanira
bubaka bwa Palamenti.
Abalala abavuganya kuliko; Acer Godfrey Okot, Aisha Wanyana, Robert Asiimwe, Antonia Imong Moira, Zacharia Isabirye, Benjamin Kalumba Sebuliba, Robert Kasozi (PPP), Christine Gloria Katusiime, Wilberforce Kyambadde (FDC), Shukla Mukesh
Babubhai ne Emmanuel Tebisuula Sserumaga.
KAKANDE, SENNYOYI NE ZZIWA BALWANIRA NAKAWA WEST
E Lubaga South, Kato Lubwama kyeraga lwatu nti alina okulwana ennyo okusigaza entebe.
Aloysius Mukasa Talton Gold owa NUP naye azze n'amaanyi
Azze yeenyigira mu mirimu egikulaakulanya ekitundu ng’okuyamba ebibiina
by’abakyala, obutale, aba boda boda n’abalala.
Paul Kato Lubwama atalina kibiina kyabyabufuzi ateekeddwa okuba ng’akazito akawulira wadde ng’agamba nti munene okusinga NUP.
Eugenia Nassolo New
Eugenia Nassolo (DP) afubye okwetunda mu bantu era agambibwa okuba ng’alina obuwagizi bwa Klezia mu kitundu era alaga nti aliko enkolagana
ennungi n’Obwakabaka.
Abalala kuliko; munnamateeka Grace Nakanwagi, Habib Buwembo (FDC), Michael Oscar Kayemba, Ken Lukyamuzi (CP), Siraje Kifampa Nsambu (JEEMA), Denis Kiyingi, Samuel Lubega Mukaaku (SDP), Derick Lufunya, Charles Kenneth Male (NRM), Adam Swift Mugga ne Denis Mbidde Ssebugwagwo.
No Comment