Capt. Zizinga waakuziikibwa mu bitiibwa by’amagye

Jan 26, 2021

MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa obutwa, afudde akyatakabanira mirembe mu ggwanga.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

BYA KIZITO MUSOKE
NE AHMED KATEREGGA
MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa obutwa, afudde akyatakabanira mirembe mu ggwanga.

Zizinga aziikibwa nkya ku Lwokusatu e Semuto mu ggombolola ye Gombe mu Wakiso. Omwogezi w'amagye, Brig. Flavia Byekwaso agambye nti waakuziikibwa mu bitiibwa by'amagye ebijjuvu, nga bagoberera amateeka ag'okuziika afudde Corona.

YAFIIRWA ABAANA 3 MU LUTALO
Abaana ba Zizinga basatu battibwa amagye ga Gavumenti mu 1980, ekyamuwaliriza okwegatta ku bayeekera asobole okubalwanyisa. Gertrude Njuba yategeeza Bukedde nti ye ne Zizinga be baali bavunaanyizibwa okulabirira Museveni.

Kyokka omulimu tegwali mwangu kuba yasimattukako emirundi esatu okuttibwa nga bamulumiriza okwagala okutuusa obulabe ku muduumizi waabwe. Omulundi ogwasooka ekikoola ky’omujaaja kyalabikira mu kikopo kya Museveni. Mu kiseera ekyo ssenga wa Museveni yali yamulabula obutanywa mujaaja kuba baali basobola okumulogeramu.

Ebyembi bwe yamala okunywa caayi n’alwala ng’agamba nti yali awulira ekimutambula mu nkizi. Dr. Bata bwe yamwekebejja yamuzuulamu obulwadde bwa Amoebiasis obuva ku kunywa ekintu ekikyafu oba ekitayidde. Ennaku ezaddirira Zizinga ne Njuba tebeebakanga kuba baalina okukakasa ng’omulwadde amize bulungi eddagala. Era okuva olwo baatandika okuliira ku sowaani y’emu n’omukuumi wa Museveni.

Oluvannyuma lw’olutalo, Zizinga yaliko omubaka mu lukiiko lwa NRC eyali Palamenti ya Uganda eyookutaano. Okuva olwo abadde muwi wa magezi eri Pulezidenti Museveni. Zizinga era abadde mukunzi wa bantu. Okuyingira ensiko agamba tekwali kwagala kwe, wabula yali asobeddwa awookudda.

“Bwe nnakomawo awaka, baze yambuuza nondeko ku kubeera awaka n’okubeera mu nsiko n’abayeekera. Nalondako okubeera mu nsiko kuba abayeekera bandinnondodde kuba nnali mmanyi ebyama byabwe. Zizinga yategeeza nti oluvannyuma Museveni eyali omuduumizi waabwe baamufunira omufumbi gwe baali bayita Lusigazi, olwo ye ne Njuba ne basigala okumulabirira mu birala ng’okwambala.

Gen. Kahinda Otafiire yayogedde ku Zizinga ng’eyali mwoyo gwa ggwanga ate nga nnaamwatulira ekiseera kye baamala mu nsiko. Yalumiriddwa okuba ng’agendedde mu kiseera w’abadde akyetaagisiza okulunhhamya eggwanga.


ZIZINGA LWE YASIMATUKA OKUFA
Zizinga ne Lt. Col. Gertrude Njuba be baali abayambi ba Museveni eyali omuduumuzi w’olutalo ow’oku ntikko. Omulimu ogwabwe gwali gwa kumulabirira nga bamufumbira, okumwoleza n’okukakasa ng’alabika bulungi. Kuno kwe baagattanga okubeera abakunzi mu by’obufuzi nga batuula ku lukiiko lwa National Resistence Council olwakubirizibwanga Al Haji Moses Kigongo, oluvannyuma olwafuuka olukiiko lw'eggwanga.

Kigambibwa nti lumu Museveni yalwala amambulugga, omusawo we Dr. Kizza Besigye n'agamba nti baali bamuwadde butwa era n'asemba battibwe oba bagobwe. Baasimirwa ekinnya ne bassibwamu battirwemu era baziikibwemu, kyokka Museveni n'agaana ng'agamba nti oba bamuwadde obutwa ayagala abakutukire mu ngalo nabo balabe bwe kiruma.

Awo we yatumiza omusawo omulala Dr. Ronald Bata eyamugamba nti gaali mambulugga agaali gatalina ddagala naye nga panado yali ajja kumuweweezaako okutuusa nga gawonye. Bwe batyo Njuba ne Zizinga ne bawona okuttibwa.

Nga NRM/NRA esazeeko Katonga, yalangirira Gavumenti ku nkomerero ya 1985 ng’ekulirirwa Al Haji Kigongo. Abaaweebwa okuvunaanyizibwa bw’okukunga abantu n’okubaagazisa abayeekera kwaliko; Zizinga, Njuba, Hajjati Janati Mukwaya, Col. Fred Bogere, Brig. Elly Kayanja, ne Commander Male.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});