▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi we amulinze e Masaka nga bamwanjula e Nakasongola
Mar 01, 2021
OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow’e Masaka w’osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng’awerekerwako abooluganda n’emikwano n’ayolekera e Nakasongola mu Buluuli gye baamwanjulidde ku mukolo ogw’ekitiibwa.Lwasa yayanjuddwa mu maka ga Ssaalongo Livingstone Mutakye ng’ono ye muzadde wa kabiite we, omupya Angel Kwakunda.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow’e Masaka w’osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng’awerekerwako abooluganda n’emikwano n’ayolekera e Nakasongola mu Buluuli gye baamwanjulidde ku mukolo ogw’ekitiibwa.
Lwasa yayanjuddwa mu maka ga Ssaalongo Livingstone Mutakye ng’ono ye muzadde wa kabiite we, omupya Angel Kwakunda.
Lwasa alina abakyala abawerako wabula ng’ensangi zino abadde asinga kulabibwa ne Faith Lwasa abeera e Masaka era ng’ono y’addukanya bizinensi za Lwasa omuli; Tarven Kick ne Lwasa Gardens nga zonna ziri Kyabakuza mu Buddu.
Catherine Kusasira Ng’ayimbira Balwasa Ku Mbaga.
Angel Ng’anyumye.
Mmotoka Lwasa Gye Yatonedde Kabiite We Angel.
Abagenyi Nga Bafuna Amasala.
Kigambibwa nti era e Masaka ewa Faith Lwasa gy’abadde atera okubeera ku wiikendi, wabula ku luno yakanze kumulinda nga tamulaba. Wabula ate waliwo abagamba nti enteekateeka z’okwanjula Angel zonna Faith yabadde azimanyi, kubanga n’ebintu ebimu ebyakoze ku mukolo byavudde Masaka.
Amaka ga Lwasa amakulu ag’e Bulenga gy’atera okubeera mu nnaku za wiiki kigambibwa nti temuli mukyala, oluvannyuma lw’eyalimu okugenda emitala w’amayanja. Lwasa era alina amaka amalala e Kajjansi n’e Ggangu ku lw’e Busaabala.
Kigambibwa nti omukolo gw’okwanjula Lwasa agutegekedde mu bbanga ttono ddala kubanga era n’omugole abadde kyenkana baakalabagana.
Gye buvuddeko, Lwasa abadde apepeya ne munnakatemba era omukozi ku ttivvi emu, Diana Nabatanzi era ababali ku lusegere bagamba nti babadde bamaze emyaka egisukka mu esatu nga baagalana.
Kigambibwa nti Lwasa yali ayagala kuwasa Nabatanzi mu butongole amuteeke mu maka amakulu ag’e Bulenga, wabula omuwala n’agaana ng’ayagala amuzimbire agage. Nti yamugulira ettaka ng’ategeka kumuzimbira era yatuuka n’okumufunira ennyumba e Mengo, wabula ng’omuwala asulayo lw’ayagadde, ate olulala n’asula awalala.
Yamugulira emmotoka ekika kya Prado gy’avuga era n’amuyamba n’okugaziya bizinensi ye ey’okutunda engoye gy’akolera e Makindye, wabula nga kirabika omuwala si mwetegefu kutongozebwa nga mukyala Lwasa.
Lwasa bwe yabadde ku mukolo gw’okwanjula yayongedde okukikkaatiriza nti Nabatanzi yamukolera ebintu bingi nnyo, nti wabula kati ekiseera kya Angel y’alina okweyagala.
Lwasa era yapepeyaako n’omuyimbi Desire Luzinda, wabula oluvannyuma bombi baategeeza ng’enkolagana yaabwe bwe yali ekoma ku bya bizinensi, wadde nga beekubyanga ebifaananyi ebiraga abantu abali mu mukwano.
Ku Lwomukaaga ng’ayolekera Buluuli, Lwasa nga yavuganyizza ku kifo kya meeya wa Masaka City, mu kalulu akaakaggwa yawerekeddwaako bagagga banne okuva mu Kampala n’e Masaka.
Lwasa Ne Faith Nga Bali Mu Mukwano.
Diana Nabatanzi
Lwasa ku buko yagenze azitowa anti ng’oggyeeko esswaga n’essappe ebyayoleseddwa, mmotoka ez’ebbeeyi okuli; Benz, Range Rover, BMW n’endala abako mwe baatambulidde, yatonedde kabiite we emmotoka kika kya Mark-X enkola empya kwe yamugattidde n’ebirabo ebirala.
Enteekateeka ku buko nazo Lwasa ye yazikozeeko era kkampuni ye ekola ku by’emikolo n’embaga eya Lwasa Events ye yakoze ku buli kimu ssaako abayimbi okwabadde Catherine Kusasira, Haruna Mubiru n’abalala abaasanyusizza abagenyi.
Olw’essanyu eringi, Angel enfunda eziwerako obwedda atulika n’akaaba olwo bazadde be obwedda abakola ogw’okutendereza n’okusiima omuko ne bamusaba okwagala nnyo muwala waabwe kuba naye mwagala.
Omugagga John Mulinde Ne Mukyala We Ku Mukolo.
Abamu Ku Baawerekedde Lwasa.
EBYA DIANA BIFUUSE BIKADDE KAMPASE ANGEL GWE NDABIDDE EMYEZI 5 GYOKKA
Bwe yakutte akazindaalo okwogera, yakakasizza Angel nga bw’agenda okumulaga laavu obutamujuza kyokka yamusabye obutawuliriza bigambo by’abantu nti kubanga ye Lwasa y’omu ku basajja abasinga okwogerwako.
Ng’omukolo guwedde, Lwasa eyabadde abugaanye essanyu nga bw’awaana Angel okuba embooko yategeezezza ng’ebibye ne Diana Nabatanzi bwe bifuuse ebikadde kati kiseera kya Angel.
Yatuuse n’okugamba nti; nkooye abawala abampa situleesi n’okunjolonga ate nga mbateekamu ssente zange nnyingi. Nabatanzi sirina kye simukoledde n’amaka nagamuwa naye kirabika ali ku bibye ate ssaagala kulemesa abo abayinza okuba nga bamulinamu essuubi n’omukisa.
Yagasseeko nti “Angel mmulabidde emyezi etaano era mu pulaani yange mbadde nkyamwetegereeza nga nsuubira nti bwe tuba baakukola kwanjula omukolo gusobola okubaawo nga mu July naye olw’embeera ebaddewo ate nga nze nakoowa embeera embi mpaliriziddwa okukola omukolo.
Kasita Angel ye andaze nti amanyi ky’ayagala era mumuleke yeeyagale ekiseera kikye.
Omukolo we gwabeereddewo nga kigambibwa Nabatanzi yalinnye ennyonyi n’agenda e Dubai.
No Comment