Ebikonge by’e Kibuli ebifudde mu myezi 5
Mar 31, 2021
HAJJ Musa Katongole yegasse ku basajja ffa nfe ab’Omulangira Kassim Nakibinge abafudde mu bbanga lya myezi etaano gyokka.Hajj Katongole yafudde ku Lwakubiri kumakya mu ddwaliro lya TMR e Naalya oluvannyuma lw’enaku ng’atawanyizibwa omutima. Kyategeezeddwa nti, yatwalibwayo oluvannyuma lw’okufuna obuzibu mu kussa.

NewVision Reporter
@NewVision
HAJJ Musa Katongole yegasse ku basajja ffa nfe ab’Omulangira Kassim Nakibinge abafudde mu bbanga lya myezi etaano gyokka.Hajj Katongole yafudde ku Lwakubiri kumakya mu ddwaliro lya TMR e Naalya oluvannyuma lw’enaku ng’atawanyizibwa omutima. Kyategeezeddwa nti, yatwalibwayo oluvannyuma lw’okufuna obuzibu mu kussa.
Yeegasse ku basajja enkwatangabo ababadde batava ku lusegere lw’Omulangira Kas-sim Nakibinge era okufa kwe, kwayogeddwaako ng’eddibu eddala eddene erikubiddwa mu bukulembeze bw’e Kibuli.
Yaddiridde Sheikh. Nooh Muzaata Batte eyali omwogezi w’omuzikiti gw’e Kibuli eyafa nga December 4, 2020. Muzaata yafa wakayita omwezi gumu gwokka nga Dr. Anas Kaliisa amaze okufa nga November 5, 2020.Muzaata ne Kaliisa nabo baali mukono gwa ddyo ogw’Omulangira.
Omugenzi Sebaggala
Dr. Kaliisa yava mu ofiisi ye e Naggulu n’adda mu maka ge okuwummulamu ng’ekola ye bwe yali. Baamusanga mu buliri ng’afudde. Kaliisa y’omu ku basajja abaali b’ebuzibwako ensonga z’Obusiraamu era yali mukwano nnyo gw’Omulangira Nakibinge era baamwogerako ng’omusajja anywerera ku kigambo kye atamala gakyuka.
Nga wayise omwezi gumu gwokka, nga December 4, 2020, ab’e Kibuli baabika Sheikh Nooh Muzaata eyafiira mu ddwaliro lya IHK gye yali amaze ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde.
Muzaata ye yali omwogezi w’e Kibuli, yali amanyiddwa nnyo olw’okwogera ebigambo nga tabirumamu era Omulangira y’omu ku bantu be yali yesiga okwogera amazima n’okulwanirira Obusiraamu.
Ekituufu ekyatta Muzaata n’okutuusa kati abamu bakitankana kyokka Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso yavaayo n’ategeeza nti yafa Corona wadde aba minisitule y’eby’obulamu baali tebaagala kwogera mazima.
Mu kusaalira omubiri gwa Muzaata, Supreme Mufuti, Sheikh. Siriman Kasule Ndirangwa yatulika n’akaaba ate Omulangira Nakibinge yalemwa n’okubaako ky’amwogerako olw’enyiike gye yalimu.
Okufa kwa Muzaata kwaddirira okwa Hajj Nasser Ntege Sebaggala Seya. Sebaggala naye yafiira ku IHK nga September 26. Ono naye yali musajja w’e Kibuli era okumaza omulambo gwe ku ngulu nga bateeka mu nkola ekiraamo kyeyaleka kyanyiiza ab’e Kibuli Supreme Mufuti Ndirangwa n’atuuka n’okuwa ekiragiro bamuziike kubanga kye baali bakola kyali kimenya amateeka g’Obusiraamu.
Abalala abafudde mu myezi mukaaga kuliko Sheikh Muhamood Kayiira eyafiira mu maka ge e Masajja mu November oluvannyuma lw’okulwalira akabanga ssaako Hajj Ahmed Musisi abadde nakyewa mu muzikiti gw’e Masaka.
Hajj Ahmed Ggita Sowed ssentebe w’etwale ly’e Nsangi era nakyewa mu ofiisi ya Supreme Mufuti e Kibuli yagambye nti, okufa kwa Hajj Katongole ddibu ddene mu buwereza e Kibuli n’enkulakulana y’Obusiraamu.
Yagambye nti, Katongole abadde ku lukiiko olutegeka amadda ga Mbogo nga yadda mu kifo kya Hajj Jamada Lutta Musoke eyawumula emyaka ebiri egiyise.
No Comment