Police FC akalulu ka Stambic Cup kagisudde ku Vipers FC

Aug 09, 2021

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya Startimes Uganda Premier League aba Express FC akalulu ka Stanbic Uganda Cup aka Semi kabasudde ku BUL FC ey'e Jinja so nga yo Vipers yaakukyalira Police FC e Lugogo. 

NewVision Reporter
@NewVision

Police FC Vs Vipers FC- Kyabazinga Stadium- Bugembe, Jinja 

BUL FC Vs Express FC- MTN Omondi Stadium, Lugogo 

Eyaliko ssita wa Cranes ne Express Fred Tamale ye yabadde omugenyi omukulu okukwata obululu buno.

Tamale yawangula empaka zino emirundi esatu 1994, 1995 ne 1997. Emapaka zaakuzannyibwa wakati wa 13-19 omwezi guno. 

Mu liigi sizoni ewedde, Vipers yamegga Police e Kitende omupiira ogwaliko obugombe ne batuuka n’okugoba Asan Kasingye ku kisaawe nga yeemulugunya ennamula ya ddiifiri era okuva olwo Police FC tebalima kambugu. 

Batabani ba Wasswa Bbosa abali mu mpaka za CECAFA Kagame Cup bakola bukubirire okuwangula empaka ezo oluvannyuma lw’okugenda ku luzannya lwa semi fayinolo.

Akalulu kabasudde ku BUL FC gye baamegga ewaka n'ewaayo sizoni ewedde. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});