Omutendesi wa Spurs asabye abawagizi okuwagira Kane
Aug 23, 2021
OMUTENDESI wa Spurs, Nuno Espirito Santo asabye abawagizi ba ttiimu eyo okuwa obuwagizi obugwanidde eri omuteebi waabwe, Harry Kane kuba y’ajja okubayamba okufuna obuwanguzi mu mipiira eminene.

NewVision Reporter
@NewVision
Kane, y’omu ku bazannyi abasinze okwetikka amawulire mu Bungereza olw’okutegeeza bakama be nti ayagala kwabulira Spurs yeegatte ku Man City.
Wabula okuva lwe yategeeza nti ayagala kugenda, bakama be bakyamugaanidde era baamussaako obukadde bwa pawundi 120 eri ttiimu yonna emwagala kyokka Man City bwe yassaawo obukadde bwa pawundi 100, ate Daniel Levy ssentebe wa Spurs ne yeekyusa ng’agamba nti tebakyatunda.
Enneeyisa ya Kane teyakoma kunyiiza bakulira ttiimu wabula n’abawagizi abamu baatabuka nga bagamba nti abaliddemu olukwe.
Kane
Omungereza Kane yayingiddemu mu mupiira gwa Wolves bwe baabadde bagikuba (1-0) era abawagizi abaawerekedde ttiimu ne bamwaniriza mu ngeri eraga nti bakyamwetaaga.
Wano Nuno w’asabidde abawagizi okwongera okuwa buli muzannyi obuwagizi bwe baba baakukola bulungi sizoni eno.
Ggoolo ya Dele Alli yayambye Spurs okuwangula omupiira ogwokubiri kw’egyo ebiri gye yaakazannya sizoni eno.
Nuno yatenderezza omutindo gwa Kane n’agamba nti akola na maanyi okulaba ttiimu ewangula.
No Comment