Pogba tetujja kumutunda mu katale kano – Solskjaer
Aug 23, 2021
Wadde nga PSG ebadde yeesomye okukansa omuwuwuttanyi wa ManU, Paul Pogba, omutendesi Ole Gunnar Solskjaer agambye nti tagenda kumutunda mu katale kano.

NewVision Reporter
@NewVision
Endagaano ya ManU eggwaako ku nkomerero ya sizoni eno era kitunzi we Mino Raiola gye buvuddeko, yategeeza nga omuzannyi we bw’ayagala okugenda.
Wabula Solskjaer agamba nti Pogba tebasobola kumutunda kuba y’omu ku bazannyi be basibiddeko olukoba okubawangulira ekikopo.
Omufalansa ono yaakeenyigira mu ggoolo za ManU ttaano sizoni eno nga mu gwasooka nga bakuba Leeds ggoolo 5-1, yakola asisiti nnya sso nga ne bwe baabadde balemegana ne Southampton (1-1) ku Ssande, ye yakoze ggoolo eyateebeddwa Mason Greenwood.
Kigambibwa nti ManU yabadde etegese okuwa omuzannyi ono endagaano empya mw’anaafunira emitwalo gya pawundi 40 buli wiiki asigale kyokka agava mu nkambi ya Pogba gagamba nti tagenda kukkiriza ssente ezo kubanga PSG yamusuubiza ezisinga kw’ezo. Kigambibwa nti baamusuubiza emitwalo gya pawundi 51 singa abeegattako.
No Comment