KCCA yeesasuzza Makindye Weyonje mu liigi y'okubaka

Feb 04, 2022

BBANJA lya Mwenge liggwa na Mwenge lwe lugero aba KCCA Netball Club lwe baagenze bayimba bwe beesasuza Makindye Weyonje 40-38 mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu liigi ya Netball

KCCA 40 – 38 Makindye Weyonje

Prisons 60 – 0 Ugx Luweero

Ensiike eyasooka mu kitundu kya liigi ekyasooka, Makindye Weyonje yakuba KCCA NC 40-39, February 2, 2022 KCCA yeesasuzza bannaabwe bwe basasulwa ekitongole kye kimu ekya Kampala Capital City Authority.

Asinah Kabendera Owa Weyonje N'omupiira Mu Ntabwe Ya Kcca

Asinah Kabendera Owa Weyonje N'omupiira Mu Ntabwe Ya Kcca

Baabadde ku kisaawe kya Kibuli Police primary school wabula Jesse Asiimwe atendeka Weyonje teyamatidde na mutindo abawala gwe baayolesezza naye n’awera nti amaziga bajja kugeesangulira ku ttiimu endala ze basigazza.

“Abawala abasinga babadde ku ssomero, ttiimu ebadde tetendekerwa wamu ekireeseewo obutakwatagana bulungi ku kisaawe,” Asiiimwe bwe yategeezeza.

Shaffie Nalwanja omumyuka wa kapiteeni wa KCCA yategeezezza nti b’azze nga beesomye era nga beetegese bulungi obutaganya jjoogo lya Weyonje kuddamu era ne kituukirira.

Norah Lunkuse Owa Kcca Nga Yeweese Ku Mugongo Gwa Achora

Norah Lunkuse Owa Kcca Nga Yeweese Ku Mugongo Gwa Achora

Prisons obubonero yatutte bwa kumukeeka oluvannyuma lwa Ugx Luweero gye baabadde balina okuzannya obutalabikako e Kibuli.

National Insurance Corporation (NIC) yeekulembedde ekimeeza n’obubonero 23 mu nsiike 12, Prisons (22), KCCA (21),Makindye Weyonje yaakubiri(16) n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});