Pogba anaatera okusonjola ddiiru emuzzaayo mu Juventus

Jun 13, 2022

Pogba yayamba Juventus okuwangula ebikopo bya liigi ya Yitale bina n'okubatuusa ku fayinolo ya Champions League.

NewVision Reporter
@NewVision

JUVENTUS erina essuubi nti yaakusonjola eyali omuwuwuttanyi waayo Paul Pogba. Omufalansa ono endagaano ye mu ManU yaweddeko n’agaana okugizza obuggya era mu kaseera kano talina ttiimu. Kigambibwa nti enteeseganya wakati wa Juventus ne Pogba zigenda mu maaso era wiiki w’eneggweerako, bajja kubaako we batuuse. Singa buli kimu kitambula bulungi, waakussa omukono ku ndagaano ya myaka ena nga ddiiru eno esuubira okumalawo obukadde bwa pawundi 64. Pogba yayabulira Juventus okudda mu ManU emyaka mukaaga egiyise kyokka okusinziira ku ssente ezaamugula, alemeddwa okuziggyayo.

Pogba (ku kkono) bwe yali n'eyali omutendesi we Ole Gunnar Solskjaer.

Pogba (ku kkono) bwe yali n'eyali omutendesi we Ole Gunnar Solskjaer.

ManU yamugula obukadde bwa pawundi 89. Juventus eri mu kaweefube wa kuzimba ttiimu mpya oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe okuddirira. Pogba azannyidde ManU emipiira 226 n’agiteebera ggoolo 39. Rafaela Pimenta akola nga kitunzi wa Pogba y’ali mu nteeseganya ne Juventus era agamba nti akola buli ekisoboka omuzannyi ono akutule ddiiru eno. PSG ne Real Madrid nazo zibadde zaagala omuzannyi y’omu kyokka Juventus erabika eneetera okumusonjola.

Pogba yayamba Juventus okuwangula ebikopo bya liigi bina wakati wa 2012-2016 ssaako okubatuusa ku fayinolo ya Champions League mu 2015, Barcelona mwe yabakubira ggoolo 3-1.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});