She MAK bawangudde liigi ya FUFA Women Elite League 2021/2022
Jun 19, 2022
SHE MAK ttiimu ya Makerere University ey’omupiira gw’abakazi effootodde Asubo Gafford ggoolo (6-0) n’esitukira mu kikopo kya sizoni ya liigi eyookubiri (2021/22 FUFA Women Elite League).

NewVision Reporter
@NewVision
FUFA Women Elite League
She MAK 6-0 Asubo Gafford
Sharon Namatovu owa Makerere yafuuse esonga ng’ateebako ggoolo ssatu yekka, Winnie Babirye, Jemimah Twesigye ne Rebecca Nakasato mu fayinolo eyabadde ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso ku wiikendi.
Okutuuka ku fayinolo Gafford ye yakulembedde ekibinja kya Victoria n’obubonero 23 ate She MAK nga tekubiddwaamu yakulembedde ekya Elizabeth n’obubonero 30.
Okukulembera ebibinja kyakakasa ttiimu zombi okwesogga liigi y’omupiira gw’abakazi esooka eya ‘FUFA Women Super League’ sizoni ejja.
Fred Ndawula atendeka ‘She MAK’ agamba nti okuva liigi bwe yatandika b’azze batambulira ku biruubirirwa bibiri, okuwangula ekikopo ate n’okwesogga ‘Super’ era Mukama abayambye ne babituukiriza.
“Twatandikiddewo dda okwetegekera ttiimu ez’amaanyi mu ‘Super’ ate nzikiriza tugenda kuvuganya sso si twetabamu,” Ndawula bwe yaweze.
She MAK ne Gafford zaakudda mu bifo bya She Maroons ne Tooro Queens abaasaliddwaako sizoni ewedde mu ‘Super’ okuddayo wansi mu ‘FUFA Women Elite League’.
Namatovu teyakomye kuteeba ggoolo ssatu zokka ku fayinolo naye yawangudde eky’omuzannyi wa sizoni (MVP) ate Zahara Nankya (She MAK) n’asitukira mu kya ggoolokippa eyasinze, Sylvia Namiwanda (Wakiso Hill) ye yasinze abateebi ne ggoolo 13 ate Wakiso Hill WFC n’etwala ekirabo kya ttiimu esinze empisa.
No Comment